Bino yabyogedde yeewozaako ku bigambibwa nti yeegatta ne Fred Sempijja, eyali akola mu ssamba ye ne batta Karamuzi.
Yannyonnyodde kkooti nti yakoma okumulaba ku makya ga January 22, 2010 era nga yamuleka atudde mu ntebe n’agenda ku mulimu.
Eno gye yava okugenda mu lumbe lwa mukwano gwe eyali afudde.
Tonku yategeezezza nti okuva olwo taddangayo waka kubanga landiroodi yali amu-banja, obukadde busatu era okufa kwa Karamuzi yakutegeera January 30, bwe yakwatibwa ng’agenze okweyimirira mukwano gwe.
Sempijja yasazeewo kusirika. Abajulizi 17 be baaleetebwa okulumiriza abantu bano ku musango gwe bagambibwa okuzza nga January 26, 2010, mu Zooni ya Kijjwa e Bukasa.
Yeegaanyi okutta muganzi we