Loole eno yatomedde loole endala eyabaddeko ebidomola n’obutebe, eyabadde ku mulyango gwa paaka ya bbaasi n’eyingirira akatale n’etta Sanyu n’omwana wa Sylvia Ttoola.
Omulala eyalumiziddwa ye muyizi wa S5 mu Focus SS, Aisha Nakabonge.
Loole eyatomedde yabadde-mu omujaasi eyanyigiddwa ebyuma kyokka abantu baamuyambye okumuggyamu. Ye ddereeva wa loole yadduse. Abaalumiziddwa baatwaliddwa mu ddwaaliro e Jinja.
Abadduukirize abamu ate bazze mu kunyaga bintu ng’ebidomola. Akulira Poliisi y’ebid-duka mu Jinja, Dixon Rugundana yalabudde abasuubuzi naddala abakolera wabweru, okukomya okukolera mu nguudo wakati ng’olwa Alidina ne Lady Alice Muloki.
Loole esse 3 e Jinja