Kigambibwa nti omusango baaguzza nga January 26, 2010, mu zooni ya Kijjwa e Bukasa, bwe batta Brenda Karamuzi omulambo gwe ne baguziika ku kinnya kya kazambi.
Nga January 30, omusajja eyali azze okufuuyira ye yagwa ku mulambo mu maka ga Nkurungira ge yali apangisa mu kitundu kino.
Mu bajulizi abaaleeteddwa mwe muli n’omuserikale wa poliisi eyaggya ku Ssempijja sitatimenti mwe yakkiririza nti ye yasanga Tonku amaze okusiba omulambo kwa Karamuzi mu ssuuka n’amuyambako okugusitula ne bagussa mu kinnya kino.
Bombi baakwewozaako ku Mmande nga June 20.
Awoza gwa kutta muganzi we