TOP

Omulamuzi asazeewo ku gwa Bukenya

Added 6th June 2011

Kasta ayagala Bukenya asazibwemu okukiikirira Busiro North mu Palamenti ng’agamba nti teyalondebwa mu mateeka kubanga yagulirira abalonzi ekintu ekitakkirizibwa, so nga n’akakiiko k’ebyokulonda tekaagoberera mateeka mu kutegeka okulonda kuno.

Omulamuzi ataddewo olwa June 20, 2011 okutandika

Kasta ayagala Bukenya asazibwemu okukiikirira Busiro North mu Palamenti ng’agamba nti teyalondebwa mu mateeka kubanga yagulirira abalonzi ekintu ekitakkirizibwa, so nga n’akakiiko k’ebyokulonda tekaagoberera mateeka mu kutegeka okulonda kuno.

Omulamuzi ataddewo olwa June 20, 2011 okutandika okuwulirako omusango guno era ategeezezza nti singa olunaku luno  lutuuka ng’enjuyi zombi tezikaanyizza, Kasta aleete abajulizi 24, abalumiriza Bukenya basobole okubuuzibwa ebibuuzo.

Olwo nga June 21, Bukenya naye alagiddwa okweyanjula bannamateeka ba Kasta bamubuuze ebibuuzo ku bye yeewozaako.

Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda, Ying. Badru Kiggundu naye waakubuzibwa ku by’agamba nti okulonda kwagoberera amateeka.

Kkooti yaaku-salawo oba akakiiko k’ebyokulonda teka-agoberera mateeka nga kategeka okulonda, era oba kino kirina kye kyakosa mu byava mu kulonda.

Kuno omulamuzi kw’anaasinziira oku-laba oba asazaamu ebyava mu kulonda kuno oba nedda.

Omulamuzi asazeewo ku gwa Bukenya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...