TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gaddafi apangisizza abatujju ne batulisa bbomu mu bayeekera

Gaddafi apangisizza abatujju ne batulisa bbomu mu bayeekera

Added 2nd June 2011

Abayeekera abaabadde munda mu wooteeri baabuuseeyo ne beekaaliisiza mu luggya lwa wooteeri. Obwedda buli afuluma avaayo abagalidde emmundu y’ekika kya AK47, olwo ne batandika okutulisa amasasi mu bbanga.

Kino kijjidde mu kaseera nga Minisita wa Yitale ow’ensonga z’ebweru Franco Frat

Abayeekera abaabadde munda mu wooteeri baabuuseeyo ne beekaaliisiza mu luggya lwa wooteeri. Obwedda buli afuluma avaayo abagalidde emmundu y’ekika kya AK47, olwo ne batandika okutulisa amasasi mu bbanga.

Kino kijjidde mu kaseera nga Minisita wa Yitale ow’ensonga z’ebweru Franco Frattini yaakamala okusisinkana abakulembeze b’abayeekera mu wooteeri eno, okukubaganya ebirowoozo ku ngeri Yitale gy’eyinza okuyamba abayeekera okuwamba gavumenti ya Col. Muammar Gaddafi.

Mu wooteeri eno ey’emyaliiro 14, abayeekera mwe batera okutuuza enkiiko n’okwogerako eri bannamawulire naddala abagasakira emikutu gy’e Bulaaya.

Wiiki ewedde, omukungu w’ekibiina ky’omukago gwa Bulaaya (EU) Christine Ashton yagguddewo ofiisi za EU eziri ku wooteeri eno era gavumenti ya Libya ng’eyita mu mwogezi waayo Ibrahim Moussa n’evumirira nnyo ekikolwa kino kye yagambye nti kiringa ekitegeeza nti EU ewagira eky’okukutula Benghazi ku Libya lifuuke eggwanga eryetongodde.

Wooteeri eno era y’esuza n’abajaasi abakugu okuva e Qatar abatendeka abayeekera obukodyo bwe bayinza okweyamibisa okuwangula Gaddafi n’amagye ge. Mmemba ku kakiiko akafuzi ak’abayeekera Mahmoud Shammam yakakasizza nti obulumbaganyi buno bwakoleddwa bajaasi ba Gaddafi era nti baabadde n’enteekateeka ey’okusaanyaawo  wooteeri yonna n’abaagibaddemu bonna batokomoke.

Shammam yagambye nti abatuju abaateze bbomu zino baalemeseddwa enteekateeka yaabwe ey’okutirimbula abantu, olw’ebyokwerinda ebinywevu ebyabadde ku miryango egiyingira munda mu wooteeri ne kitaasa abaabadde munda bonna obutatuusibwako bulabe era tekuli yafudde.

Shammam yagasseeko nti: Kino tubadde tukisuubira kubanga bambega baffe baatutegeeza nti ekiseera kyonna, Gaddafi waakutandika okukozesa akakodyo k’okutega bbomu mu nfo z’abayeekera n’abakungu okuva mu mawanga g’e Bulaaya ne Amerika abatamuwagira.

NATO EKUBYE EBIKOMPOLA 8 E TRIPOLI
Nga waakayita essaawa ntono nnyo nga bbomu zitulise e Benghazi, ennyonyi za NATO zaakoze olulumba mu kibuga ekikulu Tripoli.
NATO yakubye ebikompola munaana ku bizimbe bya Gaddafi era kino kyatunuuliddwa ng’akabonero k’okwesasuza olwa bbomu ezaategeddwa abasajja ba Gaddafi ku wooteeri.

OMUKUNGU WA GADDAFI OMULALA ADDUSE
Omukungu wa Gaddafi omulala Shokri Ghanem alangiridde nga bw’alekulidde mu lukung’aana lwa bannamawulire lw’atuuzizza e Roma mu Yitale.

Ghanem eyaliko Katikkiro mu gavumenti ya Gaddafi era nga y’abadde akulira akakiiko akavunaanyizibwa ku mafuta mu Libya, yasooka kusambajja bya kulekulira kyokka eggulo yavuddeyo n’alangirira nga bw’alekulidde mu butongole.

Yagambye nti ekyamwawukanyizza ne Gaddafi y’engeri abantu abatalina musango gye batuntuzibwamu amagye ga Gaddafi e Libya. Asuubirwa okwegatta ku bayeekera e Benghazi ekiseera kyonna.

Gaddafi apangisizza abatujju ne batulisa bbomu mu bayeekera

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Harold Kaija

Omukunzi wa FDC attiddwa mu...

AKULIRA okukunga abantu mu kibiina kya FDC mu disitulikiti y'e Lyantonde bamusse ne kireka ebibuuzo ku bigendererwa...

Minisita Namugwanya (mu kyenvu) n’omubaka Hussein (ku kkono) n’abamu ku bakulembeze abaalondeddwa.

Gavt. erondesezza akakiiko ...

GAVUMENTI erondesezza akakiiko ak'ekiseera ka bantu bataano mu St. Balikuddembe kagiyambeko okuddukanya akatale...

Amaka ga Kasango (mu katono) e Butabika mu munisipaali y’e Nakawa.

Obukama bwa Tooro buyingidd...

OLUVANNYUMA lwa ffamire okulemererwa okutuuka ku kukkaanya ku by'okuziika munnamateeka Bob Kasango eyafiira mu...

Florence Nabakooza bba Shafique Wangoli yakwatiddwa ng’ali lubuto.

Abaabulwako abaabwe olukala...

ABANTU abaabulwako abaabwe tebamatidde n'olukalala minisita w'ensonga z'omunda mu ggwanga Gen. Jeje Odong lwe yayajulidde...

Ku kkono; Hope Kitwiine, Mildref Tuhaise, Mercy Kainobwisho, Patience Rubagumya, Connie Kekihembo, Agnes Nandutu ne Irene Irumba.

Abakyala balaze ebirungi by...

ABAKYALA abali mu bifo by'obukulembeze mu by'obusuubuzi balaze okusomoozebwa abakazi kwe bayiseemu olwa corona...