TOP

Awambye abaawaka n’asaba obukadde 20

Added 15th May 2011

Yasabye obukadde 20 mu bakadde okubasonyiwa kyokka bwe yalabye poliisi etuuse n’akuma omuliro ku nnyumba bonna basirikkiremu.

Emma Kisakye Walugembe yakukunu-ddwa mu nnyumba ya Daniel Batwa mu Kalule Zooni e Kawempe n’ebiwundu by’omuliro gw’abadde akumye ng’ayagala afi

Yasabye obukadde 20 mu bakadde okubasonyiwa kyokka bwe yalabye poliisi etuuse n’akuma omuliro ku nnyumba bonna basirikkiremu.

Emma Kisakye Walugembe yakukunu-ddwa mu nnyumba ya Daniel Batwa mu Kalule Zooni e Kawempe n’ebiwundu by’omuliro gw’abadde akumye ng’ayagala afiiremu n’abaana b’awambye.

Abaana abaawonye okufa kuliko Nelson Batwa (17) asoma S5 mu Makerere College ng’omubbi yamufumise ebiso mu mugongo n’ekifuba, Caroline Babirye (23) eyakubiddwa ebyuma ku mutwe ne guzimba, omukozi wa waka Monica Muwumbwa (29) eyabadde n’ekiwundu eky’amaanyi ku mutwe ne Hassan Kiribaki (13) asoma P.6 mu Kawempe Modern .

""Nnabadde mu maka gange e Jinja omubbi n’ankubira essimu ng’akozesa eya mutabani wange ku ssaawa 1.30 ez’oku makya ku Lwomukaaga n’antegeeza ng’abaana bange bw’abawambye okukakasa yasomye nnamba ye mmotoka UAP 360A eri mu galagi nti era okubawonya ayagala obukadde 20. Yandaaliise ensonga okuziggyamu okusagirira era obutazikwasa poliisi,"" Batwa bwe yagambye .

Batwa yakubidde poliisi y’e Kawempe eyayanguye okutuuka mu kifo kino ne balinnya ekikomera ne bagwa munda. Wabula Kisakye yabadde abaana abasibye ku miguwa amagulu n’emikono era bwe yalingizza mu ddirisa n’alengera poliisi, yakung’aanyizza engoye, emifaaliso, ebitanda n’ebintu ebirala n’asibaawo ekisenge bonna mwe babadde n’akikuumako omuliro .

Abaserikale nga baddumirwa akulira poliisi eno, ASP Moses Ochieng baamenye eddirisa ne basobola okusikayo abaana bano n’omubbi ng’abatuuze abaabadde baagala okumutta ne baddusibwa e Mulago gye baweereddwa ebitanda nga bali mu mbeera mbi .

Awambye abaawaka n’asaba obukadde 20

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nambooze, Bakaluba n'abakulembeze abalala nga bajaganya olw'obuwanguzi bwa NUP obwamaanyi e Mukono.

Bakaluba Mukasa awangudde e...

Rev. Peter Bakaluba Mukasa yalangiriddwa ku buwanguzi nga ssentebe wa disitulikiti y'e Mukono wakati mu mizira...

Bafaaza abazze ne ambuleera...

BAFAAZA ku Lutikko e Lubaga bacamudde abantu abeetabye mu mmisa ey'okusabira Omusumba w'Essaza ly'e Masaka eyawummula,...

Swengere ne bannamawulire b...

Bannamawulire abaayimbuddwa kuliko Kasolo ng'ono aweerezza pulogulaamu y'okumakya eya Kokoliyooko ku laadiyo ya...

Katikkiro Mayiga akunze aba...

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga ayongedde okukubirizza abantu okuwandiika ebitabo by’olulimi Oluganda...

DERRICK ORONE naye alaze by...

Yawangudde eky'omubaka wa Gogonyo mu disitulikiti y'e Pallisa. Aludde mu nsiike y'okuyimba era abaddeko maneja...