TOP

Poliisi eyiiyidde Mao ne banne langi

Added 10th May 2011

Nga tebannakwatibwa, bannabyabufuzi bano okubadde: Mao, Olara Otunu, Kibirige Mayanja, Samuel Lubega Walter, Salaam Musumba (FDC) ne Eddie Yawe baasoose kukung’aanira ku kizimbe kya Uganda House we baasimbudde boolekera ekibangirizi kya Ssemateeka kyokka poliisi eyabadde eduumirwa RPC wa Kampala S

Nga tebannakwatibwa, bannabyabufuzi bano okubadde: Mao, Olara Otunu, Kibirige Mayanja, Samuel Lubega Walter, Salaam Musumba (FDC) ne Eddie Yawe baasoose kukung’aanira ku kizimbe kya Uganda House we baasimbudde boolekera ekibangirizi kya Ssemateeka kyokka poliisi eyabadde eduumirwa RPC wa Kampala South Metropolitan, Moses Kafeero, DPC wa CPS Norman Musinga ne babatangira okutambuza ebigere okutuukawo.

Kyokka baabadde bajeemedde ebiragiro bya poliisi nga batuuse ku kirabo ky’emmere ekya Steers awali edduuka lya Bata Bata ku Kampala Road ekimotoka kya poliisi we kyatuukidde ne kyekiika mu kkubo olwo ne kitandika okubafuuyira amazzi agalimu langi ya pinki bonna ne bajjonjobala.

Amaanyi g’amazzi gano yaleetedde Lubega okutalantuka agwe kyokka munnabyabufuzi munne bwe baabadde bambadde essuuti n’amukwata n’amunyweza obutagwa.

Amazzi gawanuddeyo obupande bw’amadduuka obusibibwa n’enjegere nga ne bodaboda ezaabadde zisimbiddwa ku mbalaza zaagudde.

Amaanyi g’amazzi gaayasizza n’endabirwamu za kiriniki eyitibwa KIMS esangibwa ku kizimbe kino okuli Steers.

Wabula Mao yalabiriza abapoliisi ne yeemulula n’akkirira ku kkubo eriyitira mu mbiriizi z’ekizimbe kya UCB erigguka ku Ntebe Road n’ayolekera Constitution Square we baabadde bateeseteese okukuba olukung’aana.

Nga tannatuukayo, poliisi naye yamufuuyidde amazzi gano aga pinki nga mu maaso g’ekizimbe kya Posta.

Kyokka oluvannyuma Mao yakwatiddwa ne Kibirige Mayanja nga batuuse ku kibangirizi kya Ssemateeka ne batwalibwa ku poliisi y’e Kira Road ne bakola sitetimenti.

Abantu abaabadde batandise okukung’aana baagumbulukuse embeera n’edda mu tteeko.

Bannabyabufuzi bano, basooka kusaba poliisi bakube olukung’aana mu kifo nga bawakanya emiwendo gy’amafuta n’ebintu ebikozesebwa mu mbeera eya bulijjo egyekanamye ne bagaanibwa.

Nga bamaze okukubibwa amazzi agabalagala, Lubega ne Olara Otunu bakubye olukung’aana ku Uganda House nga bawakanya okulayizibwa kwa Pulezidenti Museveni. Baaatiisizza nga bwe batagenda kussa mukka nga balaba eggwanga liwaba.

Aba DP nga tebannatandika kutambula, baasoose kutongoza kaweefube w’okukunga abantu bavumirire embeera y’emiwendo gy’ebintu erinnye ekisusse n’okuvumirira poliisi engeri gy’ekolamu emirimu gyayo. Baakubisizza n’emijoozi ne sitiika okuli ebivumirira gavumenti.

Baasabye poliisi n’amaggye bive ku nguudo kuba ebiseera eggwanga bye lirimu si bya lutalo.Mu kisenyi bayodde 23

Ate mu Kisenyi poliisi yazinduukirizza ekibinja ky’abavubuka abagambibwa nti baabadde bakunga abantu okulemesa okulayiza kwa pulezidenti Museveni ku Lwokuna nga bakungaanyizza n’ebyuma eby’okukusimisa enguudo okutaataganya enteekateeka y’omukolo.

Abavubuka 23 baayooleddwa mu zooni ya Lubiri Triangle mu Kisenyi era poliisi okubakwata baasangangiddwa nga bakungaanya ebyuma eby’okukozesa nga kino bakikola bwe bayimba ennyimba eziwera nga Museveni bw’ataggya kulayira.

Amyuka Ssentebe wa L.C I mu kitundu kino, Ssekirembo Nsibambi ye yatemezza ku poliisi oluvannyuma lw’ekibinja kino ekyavudde mu bitundu bya Kisenyi eby’enjawulo okussa abatuuze be ku bunkenke ekyabatiisizza ennyo.

Siraji Bakaleke akulira poliisi ya Kampalamukadde eyakulembedde ekikwekweto kino yagambye nti baakunoonyereza ku kibinja ky’abasajja bano n’ebigendererwa byabwe.

Poliisi eyiiyidde Mao ne banne langi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.