TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyatutte lubaale mu Balokole ne bamwokya agudde eddalu

Eyatutte lubaale mu Balokole ne bamwokya agudde eddalu

Added 10th May 2011

Kino kyawalirizza abatuuze okubalumba ne babalijja ku miguwa ne babatwala ku poliisi y’e Kanyanya n’ebintu byabwe nga bagamba nti babadde babonoonera abaana ate nga kya mawemukirano omwana okwegatta ne nnyina okusinda omukwano.

Grace Nabaleke 43 omutuuze w’e Kyebando Nsoob

Kino kyawalirizza abatuuze okubalumba ne babalijja ku miguwa ne babatwala ku poliisi y’e Kanyanya n’ebintu byabwe nga bagamba nti babadde babonoonera abaana ate nga kya mawemukirano omwana okwegatta ne nnyina okusinda omukwano.

Grace Nabaleke 43 omutuuze w’e Kyebando Nsooba nga musuubuzi w’emmere embisi ku Kaleerwe ne mutabani we Godfrey Kasujja 20 baagudde eddalu oluvannyuma lwa Nabaleke okukwata Lubaale w’ekika n’amutwala mwemu ku Kkanisa y’Abalokole ne bamwokya.

Abatuuze abaakulembeddwaamu Sam Kakande baategeezezza nti bombi babadde bafuuse mwami na mukyala kyokka nga beerigombera wa bweru.

Yayongeddeko nti Nabaleke abenganda ze baggya ne bamunenya olw’okuzannyira ku mpewo z’ekika n’azitwala mu Balokole ne bazookya oluvannyuma baabatwala ne mutabani e Masaka batereeze eby’ekika kyokka ne babaddukako ne badda mu kibuga.

Kasujja kati alinga kasiru, omuntu omulala tasobola kumubuuza kintu n’akiddamu okuggyako nnyina ky’ayongera ky’addamu nga yeefaanaanyirizaako omuvvuunuzi.

Nabaleke yabadde alogootana amannya abiri ag’abasumba b’Abalokole abatutumufu mu Kawempe nga bagamba nti beebalina ebintu by’ekika, Ensonga zaabwe ziri ku Poliisi y’e Kanyanya ku fayiro nnamba SD: 38/05/05/2011.

 

 

 

Eyatutte lubaale mu Balokole ne bamwokya agudde eddalu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.