TOP

Amazzi gava ku ki?

Added 9th May 2011

Omukazi okuvaamu amazzi ameeru kya bulijjo. Kyokka  kizibu okuvaamu amazzi ameeru nga oli mu mwezi kuba okusinga ofulumya musaayi. Abakyala n’abawala abasinga tebamanyi mbeera z’abakyala. Abakyala Katonda yabakola nga bavaamu amazzi mu bukyala era nga gakyusa langi okusinziira ku mbeera y’omu

Omukazi okuvaamu amazzi ameeru kya bulijjo. Kyokka  kizibu okuvaamu amazzi ameeru nga oli mu mwezi kuba okusinga ofulumya musaayi. Abakyala n’abawala abasinga tebamanyi mbeera z’abakyala. Abakyala Katonda yabakola nga bavaamu amazzi mu bukyala era nga gakyusa langi okusinziira ku mbeera y’omubiri.

Omukyala bw’asuula eggi amazzi gaba gafaanana ng’eminyira era ne bw’aba afunye obwagazi amazzi nago gaba ng’eminyira. Amazzi gano gaba meeru mu langi ate nga makwafu nnyo. Olumu gakyuka okusinziira ku mbeera nnabaana gy’abeeramu. Wabula amazzi agakuvaamu bwe gaba ga kitaka, kyenvu oba kiragala omanya nti olina obulwadde bw’ekikaba mu bitundu byo ebizaala. Kyandibadde ky’amagezi buli mukyala n’akebera amazzi agamuvaamu bw’aba anaaba. bw’aba n’obulwadde agende bamujjanjabe nga bukyali.

Omusajja mmuviire?
Baze alina abakyala babiri naye amaze emyaka etaano nga tadda wange. Ebbanga eryo mbadde mmanyidde okubeera nzekka era nga sikyafuna buzibu bwa bwagazi. Muggya wange ne baze baafuna obulwadde era bwe baakimanya kati baze andi bubi nti ayagala kudda mu maka gange.

Nze ntya siriimu ate nkyayagala okukuza abaana bange. ssenga nkole ntya?

Ndowooza balo anoonya muntu anaamujjanjaba mu bulwadde wabula olina okumwegendereza naawe

n’atabukusiiga. Kisoboka abafumbo okubeera bombi ng’omu mulwadde omulala nga mulamu. Balo bw’aba ayagala kudda olina okumuteekako obukwakkulizo era bw’aba tasobola kubugumiikiriza oli wa ddembe okumuviira kuba oyagala okukuza abaana bo.

Baze tayagala kucakala
Baze tayagala kucakala. bwe mmugambako tugende antegeeza nga bw’atalina biseera. Bwe mmusaba ssente azimpa bulungi nnyo naye nze oluusi kinkaluubirira okumusaba ssente zino kuba olumu nkomawo matumbi- budde era aba tayagala kunnyega. Nagambako ku mikwano gyange ne bang’amba nti alabika tanjagala kuba tewali musajja atabubira mukyala we. Ekinnuma, akimanyi bulungi nti gye ndaga okucakalira wabeerayo abasajja era bankwana kuba ndabika bulungi. Ssenga, olowooza omusajja ono anjagala oba tandiiko? Ekirala, ayinza okuba ng’alina omukazi omulala wadde sikirinaako bukakafu.

Mwana wange, ku nsi buli muntu yeefaanana yekka. Ggwe onyumirwa okucakala naye ye tabyagala. Ekirala, ayinza okuba nga ddala talina biseera nga y’ensonga lwaki tekimukaluubirira kukuwa ssente kugenda kucakala. Eky’okuba n’omukyala omulala kiyinza obutaba kituufu kuba ogambye okomawo nga waali. Balo olina okumuyiga era omutegeere kuba kati kye kikusumbuwa.

Omuwala yeeremye
waliwo omukyala gwe njagala naye akyannemye okufuna. Natandika okumukwana era ngezezzaako okukola buli kye mpulira nga nsobola naye agaanyi. Ntera okumusindikira ssente ku ssimu naye oluzifuna ate ng’azinziriza. Nfubye okumugulira ebirabo ssaako okumuweereza ssente enkalu naye byonna olubimuwa ndabira awo nga bikomyewo. Bwe mmubuuza ensonga agamba tanjala era tayagala kummalira budde bwange wabula nze mpulira nga ye mukyala gwe njagala okuwasa. Ssenga nkole ntya okumufuna?

Mwana wange olina okusooka okukimanya nti omuntu ne bw’omwagala nga ye ku mutima takwagala oba omala biseera.Embeera gy’olimu abasajja bangi bagiyitamu wabula abamu bwe balemerako batera okufuna kye babadde baagala. Abakyala babeerako n’abantu be baagala . Oyinza okumukwana nga ye alina ebintu by’ayagala ku musajja ate nga ggwe tobirina. Ekirungi yakwatulira nti takwagala.

kyandibadde kya magezi n’omwesonyiwa kuba oyinza okumwesibako ng’ate alina omuntu omulala gw’alinamu essuubi ly’okubeera naye.



 

Amazzi gava ku ki?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Eyabbye enkoko bamukubye mi...

Abatuuze baamukubye emiggo wabula nga bw’alaajana ng’agamba nga bw’atali mubbi ng’enkoko baagimuwadde buwi.

Bannakawempe mukolere okweg...

MINISITA omubeezi ow'ebyensimbi n'ebibiina by'obwegassi akubirizza BannaKawempe ne Kampala Central obuteemalira...

Aba NRM balidde mu kalulu k...

E Mpigi embiranye ebadde ku kifo kya Ssentebe w’abavubuka wakati wa munna NRM, Manisoor Muluya ne Ronald Kaleebu...

Ssekandi nga y'akamala okwewandiisa.

Abavuganya Ssekandi baagala...

ABAVUGANYA omumyuka wa Pulezidenti bamutaddeko amaanyi okumusuuza ekifo ky’omubaka wa Palamenti e Masaka. Kigambibwa...

Akatale k'e Wandegeya nga bwe kafaanana.

Abasuubuzi b'e Wandegeya be...

ABASUUBUZI mu katale k’e Wandegeya bagambye nga bwe bagudde mu lukwe lwa ssentebe waabwe, Jonathan Gitta okwagala...