TOP

Ebintu bya bukadde biyidde ku katale e Kibuye

Added 26th April 2011

Emmotoka nnya, sipeeya wa mmotoka, embaawo, amaduuka abiri (2), obuduuka bwa sooda ne kalonda omulala n’ebirabo by’emmere ebiwerako bye byasirikkidde mu muliro ogwakutte ku ssaawa musanvu ez’ekiro ekyakeesezza Olwokubiri.

Abasuubuzi bangi baabadde mu bikujjuko bya Easter Mond

Emmotoka nnya, sipeeya wa mmotoka, embaawo, amaduuka abiri (2), obuduuka bwa sooda ne kalonda omulala n’ebirabo by’emmere ebiwerako bye byasirikkidde mu muliro ogwakutte ku ssaawa musanvu ez’ekiro ekyakeesezza Olwokubiri.

Abasuubuzi bangi baabadde mu bikujjuko bya Easter Monday era n’abaabaddewo okuguzikiza nga bwe bayita poliisi, baabadde batono. Poliisi yayanguye n’ekkakkanya omuliro ne gulema kusaasaana nnyo naddala okutuuka ku ssundiro ly’amafuta eririraanyeewo.

Abamu ku baasinze okufiirwa emmaali be basuubuzi b’embaawo, amaduuka naddala erya Hajji Bakkiddaawo ne mukyala we Namayanja eyakazibwako erya Maama Meddie, aba Kibuye Motor Service Garage nga muno mwe mwabadde mmotoka nnya ezaayidde ssaako yingini za mmotoka n’ebyuma bya sipeeya ebirala bingi ebibalirirwa mu bukadde n’obukadde bwa ssente.

Peter Lubega, ng’akola mu garagi eyo, yategeezezza nga bwe yafiiriddwa 200,000/- ze yabadde aleseemu ne sipeeya mungi wabula nti okusinziira ku kunoonyereza kwabwe, aba wooteeri emu ez’ebiwempe baalese sigiri ng’eriko amanda agaakutte ebintu omuliro ne gusaasaana.

Munne Charles Ssemwanga ow’e Makindye nga naye akolera mu garagi eno yategeezezza nga bwe yabadde aleseemu 300,000/- n’ebyuma bye byonna.

Lawrence Kabuye ow’e Makindye Jjuuko zooni makanika, Max Kivumbi ne Patrick Bugembe bagamba nti yingini nga 10 ze zaayidde, firiigi nnya, ekibanda ky’embaawo, wooteeri, ebyuma byonna ebyabadde mu sitoowa za garagi ne kalonda omulala.

Maama Meddie yategeezezza nti edduuka lye libadde litunda sipeya nga mupya gwe yabaliriddemu obukadde 36.

Ebintu bya bukadde biyidde ku katale e Kibuye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Andrew Ssenyonga

Ssenyonga alangiridde nga b...

Ssenyonga alangiridde nga bw'avudde mu lwokaano ng'okulonda kubulako ssaawa busaawa kuggwe. Ssentebe wa disitulikiti...

Joe Biden ng'alayira nga pulezidenti wa Amerika owa 46.

Joe Biden alayiziddwa nga ...

WASHINGTON Amerika Munna DP, Joe Biden alayiziddwa nga pulezidenti wa Amerika owa 46,  n'asikira Donald Trump...

Omusumba eyawummula John Baptist Kaggwa

Kitalo! Omusumba w'Essaza l...

Kitalo! Omusumba w'Essaza ly'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa afudde Corona. Omusumba Kaggwa abadde amaze...

Omusumba w'Abasodookisi any...

Mu bantu abatenda ssennyiga omukambwe mwe muli Omusumba w’Abasodookisi Silvestros Kisitu atwala kitundu ky’e Gulu...

Eddwaaliro lya Mukono ng’abalwadde balindiridde obujjanjabi.

Omujjuzo mu ddwaaliro e Muk...

Abalwadde n’abajjanjabi mu ddwaaliro e Mukono beeraliikirivu olw’omujjuzo oguyitiridde gwe bagamba nti gwandibaleetera...