Yategeezezza nti leero ku Lwokusatu agenda kutandika okutalaaga akatale kano n’abaakakiiko ke beebuuze ku basuubuzi ku ngeri gye baagala okulonda kuddukanyizibwemu n’okutegekebwa n’okusalawo abakulembeze baabwe bamale ebisanja bimeka mu ofiisi ezo.
“Njagala abasuubuzi bawe endowooza zaabwe ku ngeri gye baagala okulonda kuddukanyizibwemu ssaako n’okutubuulira emyaka gye baagala abakulembeze okumala mu ofiisi,†Bwambale bwe yagambye.
Wiiki ewedde abasuubuzzi mu katale kano beegugunze ne basibira abakulembeze baabwe mu ofiisi z’akatale okumala essaawa nnya nga babanenya okulemererwa okutegeka okulonda kw’abakulembeze b’akatale abaggya.
Â
Ab’akatale k’e Jinja baakulonda mu May