TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nnaalongo eyali akaayanira omwana amuggyiddwaako n’addizibwa nnyina

Nnaalongo eyali akaayanira omwana amuggyiddwaako n’addizibwa nnyina

Added 29th March 2011

Junior Katende ow'emyezi omwenda baamukwasizza Shamirah  Nakintu ne kitaawe Ronald Katende oluvannyuma lw'abasawo abakugu mu kwekebejja obutonde okukebera omusaayi gwabwe  ne bazuula nga Nnaalongo Harriet Nakafeero talina kakwate ku mwana ono.

Mu lipoota eyafulumiziddwa abantu bataano be baggyi

Junior Katende ow'emyezi omwenda baamukwasizza Shamirah  Nakintu ne kitaawe Ronald Katende oluvannyuma lw'abasawo abakugu mu kwekebejja obutonde okukebera omusaayi gwabwe  ne bazuula nga Nnaalongo Harriet Nakafeero talina kakwate ku mwana ono.

Mu lipoota eyafulumiziddwa abantu bataano be baggyiddwaako omusaayi, okuli abakaayanira omwana Nakintu ne Nnaalongo Nakafeero, Junior Katende, bba wa Nakintu, Ronald Katende n'omulongo Joshua Kato.

Nakafeero ow’e Kawempe Ttula  yaggulawo omusango ku poliisi e Kawempe nti yabbibwako omwana we  omulongo omu, Wasswa  mu July 2010  bwe yali amukwasizza omuwala Jackie ng’agenze okunaaba  ne bifulimizibwa mu Bukedde.

Nakafeero  yatemezebwako mukwano gwe Jane nti wa-liwo om-wana afaa-nana owu-we nga yam-ulaba mu bitundu by’e Lugoba  nga bamuyita Wasswa wabula taliiko mulongo munne.

Nakafeero yaggulawo omusango ku Nakintu ow’e Kazo  Central  n'akwatibwa era omwana n’amuggyibwako.
Gavumenti yabasasulidde okuzuula ebikwata ku musaayi gwabwe era kyazuuliddwa ng’omwana wa Nakintu bwetyo  poliisi y’e Kawempe n’emumukwasa mu butongole.

Wabula Nakintu agamba nti okuva amawulire bwe gaafuluma nti yatwala omwana wa munne,  takyayala nga buli waayita abantu bamuteebereza okubba omwana kyokka nga wuwe.

“Abantu baali banzitira mu paaka enkadde gye buvuddeko era bangoba ne ku mulimu we nnali nkola mu Kikuubo nga nabo balowooza nti ndi mubbi w’abaana. Njagala bakikakase nti ebya-zuuliddwa biraga nti omwana wange nzireyo ku mulimu gwange,’’ bwe yagambye.

Akulira bambega ba poliisi e Kawempe, Paul Mugisha yag-ambye nti okunoonyereza kug-enda mu maaso okuzuula om-wana wa Nakafeero eyabula.

Nnaalongo eyali akaayanira omwana amuggyiddwaako n’addizibwa nnyina

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...