Mugisha yasangiddwa ng’asibiddwa emikono emabega n’omuguwa nga bamutadde n’ekiwero ku mumwa.
Baamuganzise mu ddiiro ate mukyala we yabadde mu kisenge nga naye asibiddwa akandooya nga muwala we ow’emyaka ebiri yeebase ku mabbali.
“Nnawulidde omwana ng’aka-aba kyokka nga ssiwulirayo kanyego kwe kutegeeza ku batuuze ne tukonkona kyokka nga tewali ayanukula,†Robert Ssemakula muliraanwa waabwe bwe yategeezezza.
Oluggi lwabadde lusibiddwa n’ekkufulu, abatuuze kwe kulingiza mu ddirisa ne balaba Bahati ku miguwa. Baayise ssentebe Bernard Sserwadda naye eyayise Poliisi. Omuserikale yakozesezza akafumu akaabadde ku mmundu ye n’amenya kkufulu ne babaggyamu. Â
Bombi baabadde tebate-geera bulungi nga Mugisha akankana. Abatuuze baga-mba nti Mugisha alina a abamuyigganya era abadde yaakadda ku kyalo oluvannyuma lw’okuwambibwa abantu abaamuggya ewuwe wiiki bbiri emabega n’azuulibwa nga bamusudde e Kibaale.
Poliisi yatutte omwana ate abazadde n’ebatwala e Mulago.
Abazigu basibye famire akandooya ne banyaga