TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Dr. Byabashaija atongozza ekyuma ekikaza embaawo

Dr. Byabashaija atongozza ekyuma ekikaza embaawo

Added 2nd March 2011

AKULIRA ekitongole ky’amakomera, Dr. Johnson Byabashaija atongozza ekyuma ekikaza embaawo n’asaba Gavumenti okubongera ssente kubanga bazikozesa bulungi.

Alagidde balooya be ne bassaayo okusaba mu kkooti enkulu eya Uganda, nga bagisaba  okusazaamu ekibaluwa kibakuntumye ekyafulumiziddwa gye buvuddeko ne kiweerezebwa mu Kenya nga kiragira akwatibwe poliisi y’ensi yonna azzibwe mu Uganda avunaanibwe n’emisango emirala.

Bannamateeka ba Ezra, aba Kibeedi & Co. Advocates  baagenze mu kkooti ne bagisaba okusazeemu ekiragiro ekyaweereddwa omulamuzi Vincent Emmy Mugabo owa kkooti y’oku Buganda Road kye yawa nga  February 22.

Looya Janet Namudde owa kkampuni ya Kibedi & Co. Advocates yagambye nti omulamuzi  teyalina buyinza kubanga emisango gy’okugaba ceeke ez’ebikwangala egyali gigguddwa ku Ezra gyayimirizibwa oluvannyuma lw’okutwala okwemulugunya mu kkooti ya konsitityusoni.

Ezra  yayimbuddwa ku Lwokubiri okuva mu kaduukulu e Kenya. Yategeezezza nti emisango egyamukwasizza mipangirire okumwonoona n’agamba nti talina ceeke ya kikwangala gye yali awadde muntu yenna. Bwe wabaawo abamubanja alina ssente ezimala okubasasula ng’azibasanza yonna gye bali mu Uganda oba ebweru.

 “Ndi musanyu  okuddamu okubeera n’eddembe lyange ery’okwetaaya era sirina nteekateeka yonna ya kudduka mu Kenya okutuusa ng’ebintu byonna biwedde”,  bwe yagambye.

Yayimbuddwa omulamuzi Martin Muya owa kkooti y’e Makadara, mu Kenya oluvannyuma lw’okweyimirirwa ku ssente z’e Kenya obukadde mukaaga n’ekitundu (eza Uganda obukadde nga 130) n’alagirwa okuddamu okweyanjula mu kkooti buli luvannyuma lwa wiiki bbiri.

Munnamateeka wa Ezra e Kenya, Chris Kenyariri yawaddeyo n’ebiwandiiko okuli ebyapa n’ebintu ebirala ebiraga nti Ezra alina ebyobugagga bya  ssente z’e Kenya ezisoba mu bukadde 200 (eza Uganda obuwumbi 50) nga mulimu amayumba ne bizinensi.

Ensonda e Kenya zaategeezezza nti gavumenti ya Uganda erina engeri gye yayambye Ezra okuteebwa kubanga  Ezra mukungu waayo (Diplomat). Ezra yagambye nti ekitiibwa kye ng’omukungu wa gavumenti ya Uganda kyatyoboddwa n’agamba nti ensonga zino agenda kuzitwala mu kkooti.

Asuubirwa okudda mu kkooti ku Mmande nga 7 March ku musango ogw’okugaba ceeke ey’ekikwangala eri Kampuni ya SMR. Wano mu Uganda, Ezra alina emisango okuli okugabira Frank Katusiime ceeke ya doola 550,000 n’endala eya doola 123,000 ng’eno yagiwa Geofrey Kiryowa, nnanyini kkampuni ya MITTICO, kyokka ne zibuuka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kizza Senninde

Bba wa minisita Rosemary Se...

ZEFANIYA Kizza Senninde nga ye bba wa minisita omubeezi ow'ebyenjgiriza ebisookerwako, Rose Nansubuga Senninde...

Abamu ku baagala okufuna tikiti nga balwanira ku kitebe kya NUP.

Aba Bobi Wine bayomba lwa l...

OLUTALO luzzeemu ku kitebe ky’ekibiina kya Bobi Wine ekya National Unity Platform e Kamwokya nga luva ku lukalala...

Liverpool eyagala Mbappe

OKUZIMBA ttiimu ejojobya Bulaaya, omu- tendesi wa Liverpool, Jurgen Klopp abikwasizza maanyi.

Bashemera n’abaana be. Okuloota ng’ofunye omulimu mu nsi z’ebweru n’ogugaana kitegeeza ki? Nze Gift J e Makerere. Kikulabula obutalowoolereza mu bintu ebiri

Muggya wange yatta bbaffe n...

OKUFA kwa baze kwankuba wala katono ngwe n’eddalu. Abasawo baakola kya maanyi okumbudaabuda n’okunzizaamu essuubi...

Bobi Wine (wakati) lwe yali ne Latif Ssebaggaka (ku kkono) ne Chameleone (ku ddyo).

Kitegeeza ki Latif okuva mu...

LATIF Ssebaggala okuva ku kuvuganya ku kifo kya Loodi Meeya kiddiridde enteeseganya z’abavuganya Gavumenti ne bakkaanya...