Abaserikale baagobye takisi eno eyabadde eva e Kawempe Mbogo ng’edda Kampala ne bagikwatira okumpi n’akatale ka Growers ne baggyamu Kibirige.
Omuwala attottola nti, “Nnasooka kumanya Kibirige ttaamu ewedde bwe nnamupangisa ku siteegi e Mpererwe n’antuusa ku ssomero ne mmusasula 1,000/-.
Oluwummula bwelwatuuka nnalabira awo ng’akomyewo ku ssomero. Yantegeeza nga bakadde bange bwe bamu-gambye anzizeeyo ewaka. Nnasomba ebintu ne mbitwala mu takisi ye n’avuga era yasibira ku kazigo ke e Kisaasi. Yantiisatiisa okuntuusaako obulabe singa nkuba enduulu.
Yansibira mu nnyumba nga tanzikiriza wadde okufuluma okweyamba nga ng’enda mu bbaafu n’agiyiwayo ekiro ng’akomyewo. Abadde agula emmere ne nfumba ne tulya. Wabula nga bwe ng’aana okwegatta naye ng’ankuba.
Okuvaayo yamaze kunkuba ne mpisibwa bubi. Yeerabidde okusibawo akanyolo ebweru nnagenze okukwatako nga luggule ne nziruka era nnasibidde ku poliisi enoâ€.
Ekyandeese wano lwakuba ntya bazadde bange okulowooza nti nnabula n’omusajja ono. Nnabadde mu kadu-ukulu muno mwe mmaze ennaku ebbiri kwe kulaba Kibirige ng’asowodde mu takisi mu maaso.
Wabula Kibirige yagambye nti omuwala amumanyi kyokka abadde tamukozesa. Akulira bambega ba poliisi e Kawempe, Paul Mugisha yagambye nti Kibirige yagguddwaako omusango gw’okusobya ku mwana ku fayiro nnamba SD:44/17/02/11 .
Akubye enduulu ng’alabye omusajja eyamusobezzaako