TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi ekutte awa abakazi kalifoomu n’abasobyako

Poliisi ekutte awa abakazi kalifoomu n’abasobyako

Added 25th February 2011

Peace (amannya amalala galekeddwa) ow’e Nansana kati amaze ennaku bbiri nga tamanyi bifa ku nsi olwa kalifoomu omungi eyamukubiddwa kwe baagasse n’okumukabassanya.

Kakwandi yagambye nti abeera ku kizinga Migingo ekiri ku nsalo ya Kenya ne Uganda kyokka ng’asuubulira mu Kampala.

Peace (amannya amalala galekeddwa) ow’e Nansana kati amaze ennaku bbiri nga tamanyi bifa ku nsi olwa kalifoomu omungi eyamukubiddwa kwe baagasse n’okumukabassanya.

Kakwandi yagambye nti abeera ku kizinga Migingo ekiri ku nsalo ya Kenya ne Uganda kyokka ng’asuubulira mu Kampala. Aludde nga yeegomba Peace era baasisinkanako enfunda eziwera mu Kampala omukyala ono gy’akolera.

Kalifoomu yamulunze mu ccupa y’omwenge gye yaguze ng’ekirabo n’agiwa Peace ng’akamu ku bukodyo bw’o-kumutengula emmeeme. Kigambibwa nti Peace aludde ng’akuula Kakwandi kyokka nga bwe batuuka ku by’okumugamba ku ‘kaboozi’ nga yeekwasa nti ali mu nsonga; olwo Kakwandi kwe kuyiiya akakodyo kano.

Yolamu Masiko bba wa Peace yagenze okukomawo awaka, ng’awulira mulimu omusajja eyeekeja kyokka ng’omukazi takyalina na gawuuna. Yayingidde n’akwata Kakw-andi n’atandika okumukuba. Abatuuze b’oku Yesu Amala e Nansana nabo baamwegasseeko okukuba Kakwandi okutuusa poliisi lwe yazze n’emubatakkuluzaako.

Kyokka Kakwandi yategeezezza poliisi nti amaze ebbanga lya mwezi mulamba n’ekitundu nga bali mu mukwano ne Peace nti era babadde basisinkana ku Good Hope Hotel mu Kampala.
‘‘Peace abadde ampeeka ensimbi nti ayongere mu bizinensi ye era ng’ansuubizza okunfumbirwa. Yantegeezezza nti si mufumbo era nti abeera wa kojjaawe e Nansana nti ate eky’omukisa ne kojjaawe akolera Malawi. Kyokka nga buli lwe mugamba okuntwala w’abeera ng’awa obusongasonga,’’ bwe yategeezezza.

Kino kyawa Kakwandi amaanyi n’alinnya Peace akagere n’alaba w’abeera era n’amulumba mu kiseera bba nga taliiwo. Abaana abaabadde awaka yabawadde ssente za switi n’abagamba bagende ku dduuka ajja kubakimayo, olwo n’awa Peace eccupa y’omwenge omwabadde kalifoomu era omukazi olwawunze, Kakwandi ne yeekola ekigenyi.

Wabula Kakwandi yabadde yaakatuusibwa ku poliisi, abakyala babiri ne balumba poliisi y’e Nansana nga batutteyo emisango nga balumiriza Kakwandi nti yabafera n’abaggyako ensimbi 960,000/- n’amasimu gaabwe ng’abasuubizza okuba-leetera ebyamaguzi okuva e Kenya babyongere mu bizinensi zaabwe.

Sofia Kiyangi ow’e Najjanankumbi ne Edith Tamale ow’e Zzana bagamba nti Kakwandi mufere era okubamatiza n’abanyaga baamusisinkana mu takisi eyali egenda ku luguudo lw’e Ntebe ne bakkaanya okusisinkana ku Bat Valley mu Kampala nga February 16 omwaka guno, nti bakutule ‘ddiiru’ era wano we yabaggyirako ensimbi n’amasimu gaabwe.

Akulira poliisi y’e Nansana, Mathias Tulyasingura yagambye nti Kakwandi waakutwalibwa mu kkooti amangu ddala nga bamaze okunoonyereza okujjuvu okuzuulira ddala ebituufu ebikwata ku musa-jja ono kubanga yasangiddwa ne ddoola ez’ebicupuli 10,000 ezirowoozebwa nti azikozesa mu kufera abaka-zi ng’ayita mu kubakwana kyokka ng’ekigendererwa  kya kubanyaga n’okusinda nabo omukwano.

Poliisi yamugguddeko ogw’okusaalimbira mu maka ga Masiko oguli ku fayiro SD/52/22/02/2011.

Poliisi ekutte awa abakazi kalifoomu n’abasobyako

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...