TOP

Abantu 40 bakwatiddwa

Added 18th February 2011

Omubaka Guma okukwatibwa kiddiridde abawagizi be  okulumba aba Xavier Kyoma gwavuganya naye  ne bagwanyana mu malaka.

Omwogezi wa poliisi Judith Nabakooba yagambye nti  abawagizi bano basisinkanye mu kibuga kye Ibanda ne batandika okuwanyisiganya ebisongomu , n’oluvannyuma ne balwana.

Omubaka Guma okukwatibwa kiddiridde abawagizi be  okulumba aba Xavier Kyoma gwavuganya naye  ne bagwanyana mu malaka.

Omwogezi wa poliisi Judith Nabakooba yagambye nti  abawagizi bano basisinkanye mu kibuga kye Ibanda ne batandika okuwanyisiganya ebisongomu , n’oluvannyuma ne balwana.

Abawagizi ba Kyoma  nga yali ku kaada ya NRM, abaabadde batambulira mu mmotoka nnamba UAJ, baalinye emmotoka yaabwe ne baviira abawagizi ba Guma.

 Wabula baabawondedde  okutuuka ku kyalo Kambendyyaho, ne bawalirizibwa okuva mu mmotoka zaabwe ne baddukira mu maka agaliraanyewo ku kyalo Katojo. Abawagizi ba Guma be yabadde nabo bakkakkanye ku ba Kyoma ne babakuba , okukkakkana nga Moses Ainebyona bamusse.

 Poliisi yakutte Omubaka Guma Gumisiriza , Alex Byakatonda, Mwesigye Kabaka, Esau Musasizi ne Apollo Watereza bagiyambeko mu kubuuliriza kwayo.

 Ate e Iganga , abasirikale ba poliisi abaabadde ku mulimu gw’okulawuna e Walugogo Estates, bazindiddwa abawagizi ba  Nasser Madiobe na babakuba n’okubatuusaako obulabe.

 Abasirikale abaabadde balawuna batuuse okumpi n’amaka ga Madiobe  era abawagizi be bwe baalengedde emmotoka ya poliisi ne basuula emisanvu mu luguudo okugiziyiza okuyitawo.

 Nabakooba yagambye nti  baawaliriza abasirikale okuvuga emmotoka okugituusa mu luggya lwa Madiobe , olwo ne batandika okubakuba n’okwonoona emmotoka  UP 0350.

 Oluvannyuma baayise sukaali ne basula ne sabbuuni mu mmotoka ne bayita bannamawulire ne babategeeza nga bwe bakutte  aba poliisi nga bagabira abantu ssabuuni. Okunoonyereza ku nsonga eno kukyagenda mu maaso.

E Serere, poliisi yafunye amawulire nga bwe wabaddewo okulwanagana  mu kabuga k’e Kanungu, Kamodi, poliisi n’egenda okutuusa embeera . Wabula abantu olwalabye poliisi ne batandika okubakuba  era Cpl. Francis  Olupot yafunye ebisago eby’amaanyi. Emmundu ye bagiwambye wabula poliisi yasobodde okugizuula mu kasiko akaliraanyewo.

Poliisi yakutte abantu basatu bagiyambeko mu kubuuliriza kwayo. Abaakwatidddwa ye; Mutwalibu waiswa, Ali Olinga ne Paul Okiria

Abantu 40 bakwatiddwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...