TOP

Omusunsuzi w'emiziki aleese Kanzunzu

Added 17th February 2011

OMUSUNSUZI w’ennyimba ate ng’akola nga DJ mu bifo ebisanyukirwamu atandise okuyimba. Anne Kigozi aleese olutambi lwe olupya lwatuumye Kanzunzu.

Ezra baamukwatidde Nairobi ku Lwokusatu akawungeezi. Yabadde asuubirwa okutwalibwa mu kkooti eggulo (Lwakuna). Eno y’entikko y’okuyigga Ezra okumaze emyaka ebiri  kyokka nga buli muntu yewuunya lwaki alema abamuyigga okumufuna kubanga abadde atambula mu mawanga agenjawulo. Okulemwa okumukwata kimufudde ‘STAR’ (omuntu asukkulumye ku balala).

Yassibwako ekiragiro ekimunoonya mu October wa 2009 olw’okugaba ceeke y’ekikwangala. Bamubanja mu Uganda, Kenya n’amawanga amalala. Kyokka buli lwe baba bamufumbiikirizza ng’akolawo akatiisa. Okugeza mu September 2010, bwe yayisibwako ebirango mu nsi yonna nti bamunoonya, yatuuza olukiiko lwa bannamawulire n’abalaga doola obukadde busatu n’ayita abamubanja bajje abasasule.

Bwe yakwatiddwa, poliisi ya Uganda n’esaba eya  Kenya okubamuweereza  amangu ddala ng’amalirizza emisango egimuvunaanibwa mu Kenya,  attunke n’emisango esatu egyamuggulwako abasuubuzi mu Uganda.

Akulira ekitongole  ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID)  Edward Ochom yagambye nti poliisi y’e Kenya yabategeezezza ku kukwatibwa kwa Ezra era nga bayita mu poliisi y’ensi yonna eya Interpol.

Ezra bwe yatuusiddwa ku poiisi yamaze essaawa ssatu nga bamubuuza akana n’akatano. Atwala  poliisi mu Nairobi,  Anthony Kibiki yagambye nti fayiro za Ezra zaawedde baabadde bamutwala mu kkooti.

Ensonda zaategeezezza nti waliwo eyatemezza ku poliisi nga Ezra bw’aliko enju emu mwali e  Nairobi nga baliko ddiiru gye baabadde bakutula. Olw’obutasooka kukakasa nga Ezra yabadde mu kifo ekyo, piliisi yatutte abaserikale ne bakyebulungulula, abamu ne bagwa kkava, abalala ne balinnya waggulu ku bizimbe ebiriraanyewo. Olwo ekibinja ekirala ne kiryoka kikonkona geeti ne bayingira.

Ezra avunaanibwa kugaba ceeke eri kampuni y’e Kenya eya SMR Ltd mu 2009 ng’eriko emitwalo gya ddoola 20 (mu za Uganda obukadde 460) kyokka nga yali akimanyi nti akawunti ye teriiko ssente.

Aba kampuni eno baatwala ceeke mu bbanka ya Ecobank Towers ku luguudo Muindi Mbingu mu kibuga Nairobi nga October 20, 2009  n’ebuuka.

Poliisi ya Uganda yaakaweebwa ebiragiro bya kkooti bisatu okukwata Ezra wabula abadde akyabalemye nga n’olwasembayo mu October 2010, baakola ekikwekweto ku kizimbe kye yali apangisa e Nakasero wabula ne basangamu bakozi be wamu n’ebyambalo by’amagye 10.

Mu babanja Ezra mu Uganda kuliko kampuni ya MITTCO International ey’omugenzi Geoffrey Kiryowa gye yawa ceeke ey’ekikwangala eya ddoola 123,000 (mu za Uganda obukadde 280),  omusuubuzi Ben Kavuya abanja Ezra emitwalo gya ddoola 24 (mu za Uganda obukadde 550) ze yamuwa mu 2006; ekitongole ky’emisolo ekimubanja obukadde 1,100, kw’ossa n’abasuubuzi ssekinnoomu abalala abaatwala emisango ku poliisi ne mu kkooti.   
    

    
    

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabaka tebagenda kumukongoj...

KABAKA Mutebi II si wakukongojjebwa ng’Obuganda bukuza amatikkira ge ag’omulundi ogwa 27 olw’okutya okusasanya...

Ow'emifumbi eyagobeddwa mu ...

OMUZANNYI w’emifumbi Geoffrey Lubega eyagobeddwa mu nyumba olw’okulemererwa okusasula ensimbi z’obupangisa adduukiriddwa....

Empaka za FEASSSA zisaziddw...

OMUKISA gwa Uganda okulwanirira okweddiza ekikopo ky’emizannyo gy’amasomero ga ssiniya ag’obuvanjuba bw’Afrika...

Nankabirwa ng'asanyusa bato banne

Omuyimbi muzibe asaba kuvuj...

BYA SOPHIE NALULE Angel Nankabirwa ow'emyaka 12 bw'omuwulira ng'ayimba ku muzindaalo odduka mbiro otere esange...

Kabineeti eteesezza okuggul...

KABINEETI eggulo yateesezza ku kuggulawo akeedi n’ebirina okussibwa mu nkola nga ziggulwawo.