TOP
  • Home
  • Amawulire
  • ‘Ng’enda kuyamba abayizi abaavu’

‘Ng’enda kuyamba abayizi abaavu’

Added 15th February 2011

Museveni eggulo yatalaaze Divizoni y’e Kawempe era olukung’aana lwe olusooka yalukubye mu kibangirizi kya yunivaasite y’e Makerere ekimanyiddwa nga ‘Freedom Square’.

Yalagidde abakulembeze b’abayizi mu ttendekero lino okumuwandiikira olukalala lw’ebizibu ebibaluma balumuweereze abik

Museveni eggulo yatalaaze Divizoni y’e Kawempe era olukung’aana lwe olusooka yalukubye mu kibangirizi kya yunivaasite y’e Makerere ekimanyiddwa nga ‘Freedom Square’.

Yalagidde abakulembeze b’abayizi mu ttendekero lino okumuwandiikira olukalala lw’ebizibu ebibaluma balumuweereze abikoleko.

Yeeyamye n’okutumbula enkola esobozesa abayizi abaavu okusoma nga bayambibwako Gavumenti mu nkola ey’okubawola.

Museveni yannyonnyodde nti ekizibu ky’amasannyalaze kye kimu ku bibadde bizing’amya enkulaakulana n’okulemesa okutondawo emirimu emingi, kyokka n’abagumya nti amabibiro Gavumenti g’ewomyemu omutwe bwe ganaggwa, enkulaakulana n’emirimu emirala gyakutondebwawo.

Kyokka yawadde abayizi amagezi obutalowooleza mu mirimu gya Gavumenti gyokka kubanga mitono nnyo bw’ogigeraageranya ku muwendo gw’abayizi abatikkirwa, n’abakubiriza okussa essira ku ky’okwetandikirawo emirimu egyabwe nga beesigama ku bibeera bibayigiriziddwa kw’ossa n’okweyambisa amagezi ag’ekikugu okukola emirimu gy’ebweru w’eggwanga kyokka nga basinziira wano mu nkola gye yayise ‘Out sourcing’ etambulira ku mikutu gya yintaneeti.

Oluvannyuma Museveni yalambudde Mulago ate akawungeezi n’akuba olukung’aana olw’amaanyi e Kawempe ku Growers.

‘Ng’enda kuyamba abayizi abaavu’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Micheal Kinene Akomyewo na ...

Micheal Kinene Akomyewo na Nkuba mpya Omuyimbi Micheal Kinene akomyewo na nkuba mpya oluvannyuma lw'okumala...

Akulira UNEB Dan Odongo.

UNEB be yasunsudde okutegek...

Bya Benjamin Ssebaggala  AKAKIIKO akagaba n'okusunsula abakozi mu minisitule y'ebyenjigiriza (Education Service...

Omusawo ng'agezesa bwe balongoosa.

''Mukebere abalwadde endwad...

AKULIRA eddwaaliro ly’e Mulago, Dr. Byarugaba asabye abasawo abalongoosa endwadde nga kkansa w’omu byenda essira...

Abamu ku baabadde mu lukiiko.

Ababadde basolooza busuulu ...

ABATUUZE beekubidde enduulu mu boobuyiinza babayambe obutatundirwa mu bibanja byabwe okubafuula emmomboze. Kiddiridde...

Omusajja ng'afuuyira mu ntebe z'omutuuze.

Balimwezo ne KCCA baggudde ...

Ekitongole kya KCCA nga bali wamu ne Balimwezo Community Foundation batongozza okufuuyira ebiku n’ebiyenje nnyumba...