TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ow’ekitongole ky’ebyemisolo bamukubye akatayimbwa

Ow’ekitongole ky’ebyemisolo bamukubye akatayimbwa

Added 9th February 2011

Ssembatya Paulo 31 omutuuze w'omu zooni ye Ggwafu mu Ggombolola ye Goma, Mukono ng’akolera ku ttabi ly’e Nakawa yapooceza ku kitanda e Mulago oluvannyuma lw'okugwa mu bazigu ku Lwokutaano ku makya okumpi ne wooteeri ya Ridar  mu kabuga k’e Seeta ne bamukuba akatayimbwa ku mutwe ne batwala nâ€

Ssembatya Paulo 31 omutuuze w'omu zooni ye Ggwafu mu Ggombolola ye Goma, Mukono ng’akolera ku ttabi ly’e Nakawa yapooceza ku kitanda e Mulago oluvannyuma lw'okugwa mu bazigu ku Lwokutaano ku makya okumpi ne wooteeri ya Ridar  mu kabuga k’e Seeta ne bamukuba akatayimbwa ku mutwe ne batwala n’ensimbi 50,000/-, engatto, n'essimu ye.

Okusinziira ku mutoowe Kimbowa Ssonko amujjanjaba mu ddwaaliro e Mulago yategeezezza nti Ssembatya abadde atera okukeera okugenda e Nakawa gy’akolera  era ng’akozesa bodaboda nti naye ku luno teyazze kwe kusalawo atambule.

""Kiteeberezebwa okuba nti agasajja gasoose kumutuga n'agalwanyisa nnyo kubanga alina enkwagulo mu bulago ne mu mugongo era kati talina ky’ategeera ku nsi,"" Kimbowa bwe yategeezezza.

Omuduumizi wa poliisi mu distulikiti y’e Mukono Aliphonse Musoni yagambye nti ebikolwa byobutayimmbwa bibadde bikendedde mu Seeta naye bagenda kwongera obukuumi mu katundu akalimu woteeri ya Ridar kubanga wano abazigu bateegerawo nnyo abakeera okugenda okukola.

Ono ye muntu owokusatu  okukubwa akatayimbwa mu kifo kino ng’eyasooka yali Josephine Namubiru eyali omusubuzi e Nakasero eyattibwa ne Sylivia Nalumansi.

Ow’ekitongole ky’ebyemisolo bamukubye akatayimbwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssentebe Sserunjogi ng'alaga olukalala oluliko abantu be yagobye.

Ssentebe agobye abakulembez...

Ssentebe w'e Bujuuko agobye abakulembeze ku lukiiko lwe lwa kumutyoboola mu bantu. Francis Sserunjogi ow'e Bujuuko-...

Omugagga Dodoviko Mwanje ( ku kkono ) ng'ali ku kkooti e Kololo ne SSP Rashid Agero.

Okuwulira omusango oguvaanw...

WADDE nga gavumenti yamaliriza okunoonyereza ku musango oguvunaanibwa omugagga Dodovico Mwanje amanyiddwa nga Dodo...

Kityo eyakuliddemu enteekateeka y'ekyoto ng'ayogera.

''Ababuvuka mugondore amate...

OMWAMI wa Kabaka atwala eggombolola y'e Nsangi, Wasswa Mathias Kutanwa asabye abavubuka okuba abasaale mu kulwanyisa...

Abamu ku baana abaafudde.

Poliisi eyingidde mu by'aba...

POLIISI mu disitulikiti y'e Rakai eyingidde mu kunoonyereza ku kituufu ekyaviiriddeko abaana aba famire emu, abataano...

Brenda Nairuba ng’apooca mu ddwaaliro ly’e Kamuli-Mulago.

Bba amutemye lwa kumumma ma...

Maama wa bbebi ow'emyezi ebiri apooca. Ali ku kitanda mu ddwaaliro ly'e Kamuli-Mulago ekkulu oluvannyuma lwa bba...