Okukola enguudo zino kiddiridde kansala Salim Uhulu ne banne okuli Godfrey Kayongo owa St. Balikuddembe okukyaza Pulezidenti Museveni gye buvuddeko ne bamulambuza enguudo zino era n’abakakasa nti zigenda kukolebwa mu bbanga ttono.
Omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’enguudo, Eng. Mugisha Obyero yagambye nti kino kiragiro kya pulezidenti era kkampuni egeza n’ezannyira mu mulimu egenda kubonerezebwa.
Yagambye nti enguudo bbiri zigenda kumalawo obuwumbi butaano ate omudumu gwa kazambi gugenda kumalawo akawumbi kamu n’obukadde 400.
Wabula abatuuze b’ekitundu abaakulembeddwa Salim Uhulu balabudde kkampuni ya Dotts nti ku luno tebaagala muzannyo. Ate omumyuka wa Town Clerk atwala ggombolola ya Kampala Central Justine Kasule yasiimye minisitule ya gavumenti ez’ebitundu ebawadde ssente okukola enguudo zino.
Abasuubuzi abakolera ku Kafumbe-Mukasa bacacanca