TOP

Museveni anunudde omuzigiti gwa William Street

Added 31st January 2011

“Nsazeewo okukozesa obuyinza bwaGavumenti okuddiza Lubega ssente ze, omuzigiti gwa WilliamguddireAbasiraamu bakomye okulwanagana”, bwe yategeezezzamu lukung’aana lwe yakubyemu kibuga ky’e Mpigimu Mawokota North akawungeezi k’eggulo.Yasoose kukuba nkung’aana eKibibimu Butambala.

Lubega

“Nsazeewo okukozesa obuyinza bwaGavumenti okuddiza Lubega ssente ze, omuzigiti gwa WilliamguddireAbasiraamu bakomye okulwanagana”, bwe yategeezezzamu lukung’aana lwe yakubyemu kibuga ky’e Mpigimu Mawokota North akawungeezi k’eggulo.Yasoose kukuba nkung’aana eKibibimu Butambala.

Lubega yategeezezza Bukedde nti Pulezidenti ky’anaasalawo ky’ajja okugenda nakyo kubanga naye kimuyamba ng’omuntu. Lubega yagula poloti 102/104 okuli omuzigitimu 2005 ku doola obukadde bubiri n’awakanyizibwa nnyoAbasiraamu abakulemberwa Sheikh Muhammad Kamoga ne Hassan Kirya era baamulemesa okutwala ekifo.

Lubega oluvannyuma yategeeza bw’akkirizza okuddiza Abasiraamu ekifo ekyo ssinga bamuddiza ssente ze bamuteeremu
n’amagoba nga byonna awamu bwe bukadde bwa doola butaano.

Mu 2007, Abasiraamu baawawaabira Mufti Mubajje, Idrissa Kasenene (eyali omuwandiisiwaUMSSC) ne Haji Hassan Basajjabalaba nga
babavunaana okutunda ettaka ly’Omuzikiti.

Nga June 24, 2007 Lubega yawa kkooti obujulizi nti yagula ettaka lino nga tategeezeddwa nti liriko omuntu yenna alikaayanira.

Yaligula ayitamu kayungirizi w’ettakaAsuman Irunga owa kkampuni ya First Merchant International Trading Company
Ltd. Mu February 2008 Abasiraamu abawakanya Mubajje okuli Sheikh Nooh Muzaata ne Kirya baasisinkana bannaddiinimu Klezia Katolika
okubasaba bakkirizise Lubega avemu nsonga z’ettaka eririko Omuzikiti.

Nga April 23, 2008, Lubega ng’ayitamu balooya ba Ssemuyaba, Iga and Company Advocates yawandiikira Uganda Muslim Supreme Council (UMSC) ng’ayagala bamuddize ensimbi ze yawaayo ng’agula ettaka eryo.

Nga May 16, 2008UMSC yavaayo n’etegeeza Lubega nti si nneetegefu kuliwa nsimbi kubanga obuyinza ku ttaka eririko Omuzikiti bwamukwasibwa nga kiri gy’ali okubukozesa okulikolerako.

Museveni yagambye ntiwakati mu nkaayana asazeewo okukozesa obuyinza bwaGavumenti asasule Lubega. Mu lukung’aana lwe lumu Amelia Kyambadde eyeesimbyewomu Mawokota North yasabye pulezidenti atangaaze ku byogerwa nti Museveni agenda kukozesa Amelia abbe ettaka lya Buganda.

Museveni yagambye nti amaze mu buyinza emyaka 25 kyokka ayagalawabeewo amulaga yiika y’ettaka emu yokka gye yali abbye. N’agamba nti oyo pokopoko.

Museveni anunudde omuzigiti gwa William Street

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ndagga ng'ayogera eri bannamawulire.

'Amasomero agasomesa ebibii...

Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Wakiso, Daniel Ndagga, ategeezezza ng'amasomero agasinga bwe gaziimudde...

Ente ali mu kifaananyi ne banne gye baakwatiddwa nayo.

Babakutte lubona n'ente enzibe

Poliisi y'e Sseeta Nazigo mu disitulikiti y'e Mukono ekutte abasajja babiri abateeberezebwa okuba ababbi b'ente...

Minisita Kuteesa

Minisita Sam Kuteesa ayanju...

MINISITA w'enkolagana y'amawanga g'ebweru, Sam Kahamba Kuteesa ayanjudde lipooti ku bwegugungo obwaliwo nga November...

Myeyu asibiddwa emyaka ena.

Eyakwatibwa n'ebyambalo by'...

SSENTEBE wa kkooti y'amagye e Makindye, Lt. Gen. Andrew Gutti asibye omusajja emyaka ena mu kkomera e Kitalya lwa...

Bakiraaka ba kkooti nga bambadde yunifoomu.

Baleese yunifoomu z'abakozi...

Kaweefube w'okulwanyisa obuli bw'enguzi, essiga eddamuzi limukwasizza maanyi bwe litongoza  yunifoomu  egenda okwambalibwa...