Bino yabyogeredde mu muluka gw’e Kyampisi gye yategeerezza nti okwesimbawo tazze kunoonya mulimu, bitiibwa oba ssente wabula kukwatizaako gavumenti okukulaakulanya abantu b'e Bamunaanika bave mu bwavu.
 ""Emirimu nnina mingi ne ssente nfuna ezisinga ez’ombaka wa Palamenti. N’olwekyo sigudde ddalu okujja mu byobufuzi wabula embeera embi abantu gye balimu y'endeese okwewaayo nga ssaddaaka mbanunule,"" bwe yagambye.
Yategeezezza nti emikwano n'obusobozi abirina ate mukulembeze alina omuzinzi asobola okwogerera abantu be n'okubabeeramu okumanya ebizibu byabwe bisobole okunogerwa eddagala.
Ng’enda kugaba bbasale 250 - Dr. Muyingo