TOP

Ababadde banyaga omuyizi babakubye

Added 23rd January 2011

Bino byabadde ku kyalo Buguju e Mukono wiiki ewedde Muhammed Lubega ne Brian Senyange bwe baakwatiddwa.

Kigambibwa nti bombi gye buvuddeko baalimbye omuyizi mu ttendekero lya  Uganda Christian University e Mukono, Sylvia Nanono, nti balina akazannyo ak’okuwa-nguala ensimbi ke batambuza mu bant

Bino byabadde ku kyalo Buguju e Mukono wiiki ewedde Muhammed Lubega ne Brian Senyange bwe baakwatiddwa.

Kigambibwa nti bombi gye buvuddeko baalimbye omuyizi mu ttendekero lya  Uganda Christian University e Mukono, Sylvia Nanono, nti balina akazannyo ak’okuwa-nguala ensimbi ke batambuza mu bantu  ne bamubba.

Nanono yagambye nti bwe baamusabye ensimbi ze bagamba nti ze zigenda okumuyamba okuyingira mu kazannyo nga tazirina, kwe kumuteeka akati mu ngalo akeefaananyiriza akati k’omumwanyi ne kamubuliramu era ne bamutiisatiisa nga bw’agenda okufa singa tabafunira nsimbi bakamuggyemu.

“Nakwata ensimbi ze nnali nazo mu nju emitwalo 80 nga kw’otadde ne Kompyuta yange ey’ekika kya laptop ne mbiwa agasajja ago byonna ne babitwala kati ate babadde bakomyewo okutwala ebirala nange kwe kukuba enduulu abatuuze ne babakwata,” Nanono bwe yategeezezza.

Ssentebe w’ekyalo kino, Christopher Kiyimba yagambye nti abatuuze olwawulidde ng’omuwala akuba enduulu  kwe kusitukiramu balabe ogubadde abavubuka bano ne badduka kyokka ne babataayiza. Olwabakutte ne babakuba emiggo n’amayinja ye kwe kuyita poliisi.

Atwala poliisi y’e Mukono, Martin Mbabazi yagambye nti baakubiddwa nnyo ne batwalibwa mu ddwaaliro e Mulago basooke bajjanjabibwe n’oluvannyuma batwalibwe mu kkooti bavunaanibwe.

Ababadde banyaga omuyizi babakubye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

KCCA ewaddeyo ekitundu kya ...

EKITONGOLE kya KCCA kyaddaaki kiwaddeyo ekitundu ku kibangirizi kya Centenary Park eri ekitongole ekivunaanyizibwa...

Pulaani y'okulonda mu 2021 ...

KU Lwokuna nga January 14, 2021 lwe lunaku lw’okulonderako ababaka ba Palamenti mu ggwanga lyonna. Omulamuzi Simon...

OC asse omutuuze e Lugala -...

OLUTALO poliisi mwe yakubidde omutuuze amasasi n’afiirawo lwatandise na kusobya ku mukazi eyakedde okugenda okukola...

Poliisi ewadde gwe yakuba e...

Poliisi yeetondedde omukazi omukadde eyakwatibwa ku katambi nga ofiisa waayo amuweweenyula kibooko.

Jjingo mutabani wa Yiga Mbizzaayo

Taata akyali mulamu tteke -...

Mutabani wa Paasita Yiga akakasizza nti kitaawe akyali mulamu katebule.