TOP

Museveni anaaliyirira Abasiraamu e Bushenyi

Added 5th January 2011

Ng’ayogerera mu lukung’ana lw’abantu bonna lwe yakubye e Kabwohe mu disirtulikiti y’e Sheema ku Lwokusatu, Pulezidenti yagambye nti “Nafunye ebbaluwa okuva mu bakulembeze b’Abasiraamu abattirwa abaabwe n’aba nyagibwako ettaka n’ebibanja mu 1979, era bonna gavumenti egenda kubaluyirir

Ng’ayogerera mu lukung’ana lw’abantu bonna lwe yakubye e Kabwohe mu disirtulikiti y’e Sheema ku Lwokusatu, Pulezidenti yagambye nti “Nafunye ebbaluwa okuva mu bakulembeze b’Abasiraamu abattirwa abaabwe n’aba nyagibwako ettaka n’ebibanja mu 1979, era bonna gavumenti egenda kubaluyirira.”

Mw.Museveni we yayogeredde bino ng’ab’eng’anda z’abattibwa n’abanyagibwako ebyabwe okuva e Kyazanga mu disitulikiti empya ey’e Lwengo, ne mu bitundu ebiorala.

Bamaze ennaku nga bagumbye e Kabwohe nga baagala kumusisinkana. Baabadde baagala okuliyirirwa olw’okuttirwa abaabwe n’okubalirira bye baafiirwa, kyokka nga baagala abaabanyagako ettaka n’ebibanja bibaggyibweko. Pulezidenti kwe kusuubiza Gavumenti  okubaliyirira.

 Ng’awa obujulizi mu kakiiko k’eddembe ly’obuntu, Pulezidenti yagamba nti okutta Abasiraamu kwakumwamu omuliro ekikonge kya UPC Maj. Edward Rurangaranga, eyakuba olukung’ana n’agamba nti “Tumaze okutema omuti, kati mmwe mutandike okuggyako amasanso”
Museveni yeewozaako nti wadde waliwo abaali bamulumiriza nti naye bino yabirimu, nti we byagwirawo yali Kampala, nti era bwe byagwa mu matu g’eyali Pulezidenti, omugenzi Polof.Yusuf Kironde Lule, n’atuuza olukiiko lwa baminisita n’amulagira nga Minisita we omubeezi ow’ebyokwerinda agende e Nkore akomye ekittabantu kino.

Mu lukung’aana olulala lwe yakubye e Ibanda, omukazi omuwagizi wa NRM  yakubye abakuumi ba Pulezidenti eddolera n’amutuukako n’amugwa mu kifuba. Yamukkirizza n’atuula naye okutuusa lwe yennyudde.

  Eggulo  Pulezidenti yasiibye akuba nkung’aana e Igara n’e Bushenyi gye yasiimidde baminista Ephraim Kamuntu, Tarsis Kabwegyere ne Richard Nduhura, olw’obutava ku mugendo ne beesimbawo ku lwabwe, nga bamaze okuwangulwa mu kamyufu ka NRM.

Yasuubizza n’okwongeza omuwendo gw’abayizi Gavumenti b’eweerera ku yunivasite e Makerere n’endala ez’obwannannyini okuva ku 4,000 batuuke ku 7,000.

               

Museveni anaaliyirira Abasiraamu e Bushenyi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Endabirira y'akamwa n'amannyo.

▶️ Olabirira otya akamwa n'...

▶️ SSAAYANSI W'OBULAMU; Olabirira otya akamwa n'amannyo.  

Yiga okukola emisubbaawa awaka.

▶️ Yiga okukolera emisubbaa...

▶️ Yiga okukolera emisubbaawa awaka ofune ensimbi.

Dr. Specioza Wandira ng'annyonnyola.

▶️ Dr. Specioza Wandira aku...

▶️ Dr. Specioza Wandira akubirizza abantu okugenda babageme Covid 19.

Natalie E. Brown

Omubaka wa Amerika mu Ugand...

OMUBAKA wa  Amerika mu Uganda Natalie E. Brown ayagalizza  Abasiraamu ekisiibo  ekirungi n'agamba nti kino kibeera...

Abaserikale nga bawaayo ebyambalo.

Aba SPC bawaddeyo ebyambalo...

ABASIRIKALE 200  abaateekebwawo okuyambako mu biseera by'okulonda bazizzaayo ebyambalo bya poliisi abamu  nga...