
DEREEVA wa Gaddafi, avuddeyo n’ayogera byonna ebyabaddewo nga mukamaawe eyali Pulezidenti wa Libya Col. Muammar Gaddafi eyattiddwa ng’aziikibwa mu ddungu.
Okusinziira ku lupapula lwa Daily Mail, Huneish Nasr agamba: Mukama wange nga tannattibwa yalaga obuvumu bwe baamukukunula mu mudumu gye twali twekwese. Yali mugumu kyokka yalabika ng’asobeddwa ng’abasajja baweereza ebikompola eby’okumukumu.
Amangu ddala nga batutuuseeko nze bankuba ekigala ky’emmundu ne ngwa wansi ne basikambula mukama wange nga bwe bamukuba agakonde.
Nga tebannatugwako twamala ennaku ttaano nga tutambula mu Sirte nga twekweka mu mayumba ag’enjawulo. Mu kiseera kino kyonna Gaddafi yalabikanga ali mu birowoozo nga takitegeera engeri amaanyi n’ettutumu lye yalina gye bituuse ku kubeera omusajja ow’omukyalo atamanyi oba enkya anaafuna ekyemisana.
Obudde bwe bwonna mukama wange yabumalanga ayimiridde atunula e bugwanjuba nga talina gw’ayogera naye kyokka nga muvumu.
Nga bamaze okutuwamba, nze bankunguzza ne bantwala mu kkomera e Misrata, simanyi oba waliyo abalala abasimattuka nga balamu kw’abo be twali nabo.
Ku Lwokubiri kumakya nga ndi mu kasenge bankima ne bankanyuga mu bbuutu y’emmotoka ne bantwala mu ddungu n’abantu abalala ab’olubatu.
Twalaba mukama wange nga bamuteeka mu ntaana oluvannyuma ne babikkako omusenyu. Emyaka 30 gye mmaze nga nkolera Gaddafi saamulabako ng’atulugunya omuntu yenna era tabadde musajja mubi.
Eyabaddewo nga baziika Gaddafi ayogedde