TOP

Abatakisi bakubaganye

Added 3rd November 2011

ABA UTODA bazzeemu okukubagana ne baddereeva omusaayi ne guyiika kyokka poliisi n’eyanguwa okubataasa bw’ebakubyemu omukka ogubalagala n’amasasi mu bbanga ne babuna emiwabo.

Bya Hannington Nkalubo ne Eria Luyimbazi

ABA UTODA bazzeemu okukubagana ne baddereeva omusaayi ne guyiika kyokka poliisi n’eyanguwa okubataasa bw’ebakubyemu omukka ogubalagala n’amasasi mu bbanga ne babuna emiwabo.


Olutalo lwabadde mu paaka ya takisi enkadde, nga lwavudde ku ssente za lisiiti ne sitiika aba UTODA ze babadde basaba buli takisi efulumya abasaabaze okuva mu paaka.


Bakanyama ba UTODA abaabadde bayiiriddwa ku miryango gya paaka, baakutte mmotoka ya dereeva Richard Mayambala eyakazibwaako erya bizibu ng’akolera ku siteegi y’e Makindye.


Baamusabye sitiika n’abagamba nti yabadde agirese ku siteegi, olwo ne bamulagira asimbe emmotoka ebbali aggyemu abasaabaze ekintu kye yagaanyi.

Dereeva Mayambala yatabuse n’abasaabaze ne bamwegattako ssaako ba ddereeva ku siteegi y’e Makindye nga bagamba nti bamuleke atuuse abasaabaze bamulinde ng’akomyewo. Aba UTODA baakigaanyi, olutalo ne lunyinyitira.

Baamukubye ebikonde n’ensambaggere amannyo ne bagayiwa n’agwa wansi.
 

Baddereeva baatabuse ne baggala emiryango gya paaka n’enguudo ezigyetoloola nga beemulugunya nti UTODA eyitirizza okubatulugunya.
 

“Tetugenda kufulumya mmotoka yonna okuggyako nga bakanyama ba UTODA bafulumye paaka” baddereeva bakira aboogeza obukambwe bwe baawera.
 

Richard Mayambala eyabadde azirise aba UTODA baamuyoddewo ne bamutwala mu ofiisi zaabwe. Kino kyayongedde badereeva obusungu ne balumba ofiisi za UTODA ku paaka baziwambe n’okuggyayo munnaabwe gwe baabadde bagambye nti afudde. Poliisi yasanze abavubuka batandise okumenya ofiisi bayite emmanju.
 

Akulira ebikwekweto ku CPS, Norman Musinga yalagidde basajjabe ne babakubamu omukka ogubalagala n’amasasi mu bbanga okubagumbulula. Kino kyawonyezza abakulembeze ba UTODA abaabadde beekung’anyirizza mu ofiisi ne ddereeva Richard Mayambala obutatuusibwako bisago. 
 

Abamu ku badereeva abeegattira mu kibiina kya DACCA baalangirira nti eby’okusasula UTODA ssente baabikomya ku Mmande. “Endagaano yaabwe yaweddeko nga  October 31, 2011 era ffe eby’okusasula twabivuddeko wadde UTODA enaatukuba,” ssentebe waabwe Mustafa Mayambala bwe yagambye.
 

Embeera eno yawalirizza aba KCCA okuwandiikira kkooti nga bagisaba ekendeeze ku kiseera omusango gwa UTODA nabo we gugenda okuwulirwa kubanga ekiragiro kye yawa aba UTODA kitandise okuleetawo okulwana mu baddereeva.
UTODA yafuna ekiragiro mu kkooti ekiyimiriza KCCA okusazaamu ttenda yaabwe wadde okweddiza paaka okutuusa ng’omusango guwuliddwa.
 

Omumyuka wa ssentebe wa UTODA, Chris Ssengooba yagambye nti okulwana mu paaka kuliko abantu abakukumamu omuliro baddereeva batabuke. “ Aba DACCA n’abawagira okuleeta bbaasi zikolere mu Kampala beebakuma mu baddereeva omuliro,” Ssengooba bwe yagambye.
 

Akulira ettabi lya Red Cross, Michael Ddembe  yagambye nti abaalumiziddwa bonna bali 10 nga  basatu ku bo baatwaliddwa mu ddwaaliro e Mulago okuweebwa obujjanjabi obusingako olw’obuvune bwe baafunye.
 

Omuduumizi wa poliisi ya Kampala Metropolitan, Andrew Kaweesi yagambye nti ayongedde abaserikale be mu paaka okukuuma emirembe nga bw’asisinkana enjuyi zonna okukkiriziganya ku bisobye kyokka n’alabula abamenyi b’amateeka okukikomya.

Poliisi ekubye amasasi mu bbanja okugumbulula abeekalakaasi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...