TOP

Omuwala bamusse mu ntiisa

Added 7th November 2011

ENTIISA ebuutikidde abatuuze mu Ssebaggala Zooni e Kansanga, omuwala omu bw’asangiddwa nga yattiddwa abatemu abatannategeerekeka

 

Bya HENRY SSENNYONDO

ENTIISA ebuutikidde abatuuze mu Ssebaggala-Nabutitti  Zooni e Kansanga, omuwala  omu bw’asangiddwa nga yattiddwa abatemu abatannategeerekeka abaludde nga bamwegezaamu okumutta.

Baamuyingiridde mu dduuka lye eritunda cakala mu kiro ekyakeesezza ku  IDD Aduha eggulo ku Ssande. Nga tebannamutta, kiteeberezebwa nti basoosekumusobyako n’oluvannyuma ne bamutuga. 

Hamida Nakawuki (25) abatuuze gwe baayogeddeko ng’abadde omuwala omubalagavu, yasangiddwa ng’attiddwa. Omulambo gwe gwasangiddwa guli bukunya nga guzingiddwa mu mufaliso kwe baamutugidde.

Kansala akiikirira omuluka guno ku Munisipaali e Makindye, Dirisa Tebandeke eyeerabiddeko omulambo gwa Hamida Nakawuki nga poliisi tennaguggyawo, agamba nti  baamutuziza akagoye akalinga akatambaala akaddugavu  nga bamaze okumusobyako.

OC wa poliisi y’e Kabalagala (IP) Patrick Baluku yakakasiza nga Hamida Nakawuki bwe yasoose okusobezebwako okusinziira mbeera omulambo gye gwasangiddwamu. N’agattako nti kirabika ebintu by’omu dduuka ebisinga obungi tebaabikutte, ssente ezitannamanyika ze bayinza okubanga ze baatutte.

‘Abatemu’ basoose kugezaako kumenya ddirisa ery’olubaawo ery’emmanju nga ggumu ne libalemerera. Baalinnye waggulu bayite mu kasolya nabyo ne bigaana kwe kugenda ne bamenya oluggi lw’emiryango lwe baabinudde n’ekyuma. Akayumba omuli edduuka lye ka Mw. Lawrence Kizito gw’abadde apangisaako.

Edduuka lino libadde lya mwannyina Meddie Katumba eyalisookeramu ye n’akola eddala e Kasangati ku lw’e Gayaza.

Omwaka oguwedde, omuwala Aisha eyali ava okucakala yawambibwa agavubuka aganywi g’enjaga agasooka okumusoberezaako mu kisaawe mu kitundu kye kimu oluvannyuma ne bamutta omulambo ne baguleka nga bagubambye mu kisaawe.

 

 

 

Omuwala bamusse mu ntiisa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...