
OMUSUMBA Robert Kayanja ow'e Kkanisa ya Rubaga Miracle Center Cathederal yeegaanye ebigambibwa nt yasiyaga abavubuka.
Kayanja,abadde awa obujulizi mu musango Abasumba, okuli Martin Sempa, Michael Kyazze ne Solomon Male wamu n'abantu abalala okuli Robert Kayiira, David Mukalazi ne Deborah Kyomuhendo mwebavunaanibwa okumwonoonera erinnya bwe baakimusaako nti yasiyaga abavubuka Samson Mukisa ne Mukalazi.
Omusumba annyonnyodde omulamuzi John Wekesa owa kooti ya Buganda Road nti bino byaliwo wakati wa 2008-2009 abasumba bwe baamwonoonera erinnya nga n'okutuusa kati akyasabibwa okwennyonnyolako nga tannayogera na bantu kumpi mu buli ggwanga gy'aba agenze.
Kayanja ategeezezza omulamuzi nti kino kimutuuseeko emirindu egiwerako ng'okwakasembayo yali agenze kubuulira njiri mu Singapore emyezi 6 egiyise tanayogera ne bamusaba yennyonnyoreko ku bigambibwa nti alya ebisiyaga.
Agambye nti okumanya abawawaabirwa balina ebigendererwa byabwe,ne poliisi bwe yamwejeereza baasigala bamulumirizza ne bafulumya ne lipoota esiiga ebitomi erinnya lye gyebaawa abamawulire.
Omusumba Kayanja yeegaanyi omusango gw''obusiyazi.