
Bya ERIYA LUYIMBAZI
ABANTU mukaaga baasimattuse okufiira mu muliro ogwayokezza obuduuka n’ebibanda mu Ndeeba.
Bino byabaddewo mu kiro ekyakeesezza Olwokuna mu Betania Zooni mu Ndeeba omuliro ogutannategeerekeka kwe gwavudde bwe gwakutte ebibanda n’obuyumba abantu nga beebase.
Ssentebe w’ekitundu kino, Kiragga Mukuye yagambye nti omuliro gwatandise ku ssaawa 9:00.
Yagambye nti abaawonye okufiira mu muliro kuliko Sseki Sseruyange ng’ono okumuggyaayo mu kayumba baakoonye luggi kuba yasangiddwa nga yeebase, John Mujuzi, Hamid Kabuye, Samson Kisekka n’abalala nga bano bonna baabadde mu kibanda kya firimu.
Mu byayidde mwabaddemu ttivvi, emizindaalo, entebe n’ebirala. Ebibanda ebyayidde kuliko ebya Mukuye Kiragga, J. B Kasajja, Edrisa Ssenyondo ne Swaibu Miti.
Omuliro gusaanyizzaawo amaduuka n''ebibanda mu Ndeeba