TOP

Abali ku gw'obutujju baloopye Gavumenti

Added 15th November 2011

ABANTU 12 abagambibwa okutega bbomu omwafiira abantu abasukka mu 70 bagenze mu kkooti etaputa ssemateeka nga bawakanya eky’okuvunaanibwa, okutulugunyizibwa wamu n’okukakibwa okukkiriza ebintu bye batakolangako.

Bya Prossy Nanziri    

ABANTU 12 abagambibwa okutega bbomu omwafiira abantu abasukka mu 70 bagenze mu kkooti etaputa ssemateeka nga bawakanya eky’okuvunaanibwa, okutulugunyizibwa wamu n’okukakibwa okukkiriza ebintu bye batakolangako.

Balumiriza ebitongole by’ebyokwerinda okuva mu Uganda, Kenya, Tanzania, Amerika  ne Bungereza okubatulugunya okuviira ddala lwe baakwatibwa, era nti babatiisatiisa nga bwe bajja okuboongerayo mu kkomera lya Gwantanamo Bay, singa tebakola kibalagirwa.

Omu ku bawawaabirwa bano, Suleiman Nyamandondo alumiriza ng’emu ku sitatimenti ze yakakibwa okukola ng’akkiriza emisango n’okulumiriza banne, bwe yagikola mu maaso ga Joan Kagezi, omuwaabi wa gavumenti, awomye omutwe mu kuleeta obujulizi obubalumiriza.

Abawawaabirwa okuli Hussein Hassan Agad, Idris Magondu, Yahya Suleiman Mbuthia ne Habib Suleiman Njoroge, Bannakenya abaakwatibwa nga September 17, 2010, bawakanya engeri gye baleetebwaamu mu Uganda nga bagamba nti abebyokwerinda tebaayita mu mateeka.

Suleiman Nyamandondo (Omutanzania)) eyakwatibwa okuva mu Arusha nga October 4,2010, ne Muhammed Ali Muhammed (Munnakenya) eyakwatibwa okuva e Tanzania, bbo bagamba nti wadde okuleetebwa kwabwe mu Uganda kwali mu mateeka oluvannyuma lwa kkooti ento e Dar-es-Salaama okuwa ekiragiro, tebaweebwa mukisa kujulira ku nsonga eno nga tebannatikkibwa kuleetebwa mu ggwanga.

Abawawaabirwa bonna  era balumiriza ab’ebyokwerinda okubakugira okulaba omuntu yenna omuli ab’enganda ne bannamateeka, kuno nga kw’otadde oluusi okubamma emmere n’amazzi.

Bwe batyo basaba kkooti etaputa ssemateeka okulagira bayimbulwe amangu ddala, era ekugire DPP obutabaggulako musango gwonna ogwekuusa ku kutega bbomu.

Zino ze zimu ku nsonga omu ku bannamateeka baabwe Peter Walubiri kw’asinzidde okusaba omusango guno guyimirizibwe, wabula abawaabi ba gavumenti, Lino Anguzu ne Kagezi ne basabayo akadde okusobola okwebuuza ku mukama waabwe (DPP).

Omulamuzi Owiny-Dollo omusango yagwongezzaayo okutuusa leero ku Lwokusatu.

 

Ogw''abaatega bbomu e Lugogo guwulirwa leero

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mbuga ne Vivian

Ebya SK Mbuga ne mukyala we...

JALIA Vivian Mbuga yasoose kuvaayo ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face book n’avumirira ebikolwa by’obutabanguko mu...

Obutungulu busobola okukugg...

GWE abadde alowooza nti obwavu bwakwesibako era nga n’olumu weeyita mwavu, okukaaba kwo kukomye anti obutungulu...

Paul Kafeero

Ebya Kafeero okuziikuulwa b...

ABAANA ba Paul Kafeero bana bapangisizza looya omupya okubawolereza mu musango ogwabawawaabiddwa bannaabwe 10....

Engeri Corona gy'akosezzaam...

Engeri abatawulira, abatayogera n’abaliko obulemu obulala ate nga balina obulwadde bw’olukonvuba gye bakoseddwaamu...

Ennyumba Ssendawula gye yazimba e Kayunga.

Famire y'omusama amansa sse...

OLUKIIKO lwa ffamire olwatudde ku nsonga z’omuvubuka wa ‘Rich Gang’ Luke Junior Ssendawula lwasazeewo aziikibwe...