TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mmotoka eyatomedde si ya Faaza - Msgr. Ssebayigga

Mmotoka eyatomedde si ya Faaza - Msgr. Ssebayigga

Added 22nd December 2011

MUNSENYOOLI w’ekigo ky’e Bwaise akakasizza nti, emmotoka eyatomedde omuserikale wa poliisi n’emutta si ya Fr. Claudius Ssegonja wabula y’omu ku bakyala be yabadde nabo.

Bya Anthohy Ssempereza

MUNSENYOOLI   w’ekigo ky’e Bwaise  akakasizza nti, emmotoka eyatomedde omuserikale wa poliisi n’emutta si ya Fr. Claudius Ssegonja  wabula y’omu ku bakyala be yabadde nabo.

Msgr. John Baptist Ssebayigga  agambye nti, yaliwo ng’omukyala omu eyajja n’akima Fr. Ssegonja okugenda okumusomera mmisa.

 “Mmotoka  Faaza Ssegonja  gy’avuga yagireka wano  ku kigo ne bagendera mu y’omukyala eyamukima era we baaviira wano omukyala ye yali avuga,” Munsenyooli Ssebayigga bwe yategeezezza.

Agasseeko nti Fr. Ssegonja  mu kiseera kino talina mmotoka yiye avuga mmotoka ya kigo, era n’obutabo obwasangiddwa mu mmotoka eyatomedde bulaga nti nnyinyo mulala so ssi  Faaza Ssegonja.

“Twanyooleddwa nnyo nga tulaba amawulire nga bamutadde wansi wa kabangali ya Poliisi. Tufunye looya agenze  mu kkooti okumuwolereza,” Msgr. Ssebayigga bwe yagambye.

 

 

Mmotoka eyatomedde si ya Faaza - Msgr. Ssebayigga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.