Bannamateeka ba KCCA, baategeezezza omulamuzi Elizabeth Musoke nti mu kifo ky’okuwandiika Kampala Capital City Authority, bannamateka ba Munyagwa bawandiika Kampala City Council Authority etemanyiddwa mu mateeka, ekitegeeza nti tewali muwawaabirwa.
Munnamateeka wa Munyagwa, Julius Galisonga yakkirizza nti yali nsobi n’asaba bakkirizibwe okukyusaamu, omulamuzi n’akkirizza.
Omulamuzi yategeezezza nti n’ekiragiro ekyali kiyimiriza KCCA okumenya akatale k’e Wandegeya nakyo tekiri mu mateeka olw’ensoga y’emu.
Omusango gwa Munyagwa bagugobye