TOP

Omukyala mmukwane?

Added 19th September 2011

Ssenga ekituufu omukyala ono mpulira nga mmwagala. Kino sikikola lwa ssente ze naye ekituufu alina empisa. Ssenga mmukwane kuba nange sirina mukazi? 

Ekirungi omukyala ono abeera abagamba obutaganza bakyala bakulu ekitegeeza nti kimuyisa bubi. Ekirala engeri omukyala ono gy’ayogeramu nammwe

Ssenga ekituufu omukyala ono mpulira nga mmwagala. Kino sikikola lwa ssente ze naye ekituufu alina empisa. Ssenga mmukwane kuba nange sirina mukazi? 

Ekirungi omukyala ono abeera abagamba obutaganza bakyala bakulu ekitegeeza nti kimuyisa bubi. Ekirala engeri omukyala ono gy’ayogeramu nammwe kitegeeza nti abatwala nga baana be. Ennaku zino abavubuka bangi baganza abakyala abakulu nga bagenderera okubabbako ssente n’ebintu byabwe ebirala. Mwana wange obutayonoona nkolagana gy’olina na mukyala ono n’omukwano oguli wakati wammwe ndaba ng’ebyokumukwana wandibivuddeko. Kijja kumusanyusa nnyo ng’ofunye omuwala ow’emyaka gyo. 

Lwaki abasajja bandekawo?

Ssenga simanyi kizibu kye nnina. Buli musajja gwe nfuna olumala okunkozesa ng’andekawo. Ekinnuma nze mba nkyabaagala kyokka bonna tebambuulira nsonga ebandesaawo ate nga nnali ndowooza nti bwe weegatta n’omusajja oba omulaze nti omwagala. Ssenga olowooza lwaki bandekawo? 

Mwana wange abasajja bangi beegatta n’abakazi nga balina ebigendererwa ebiwerako. Abamu baba baagala kwesanyusa, abalala kumanya muntu oyo gw’aba yeegatta naye n’abamu baba baagalira ddala bannaabwe. Kino tekikoma ku basajja bokka wabula n’abakazi bangi beegatta nga tebalina mukwano wabula nga bakikoze kufuna ssente oba kwesanyusa.  Ekizibu ky’olina kirabika buli musajja akukwana oba olowooza nti akwagalira ddala. Abamu bakukwana nga mu birowoozo byabwe mulimu kwegatta. Mwana wange eby’abasajja sooka obiveeko kuba bonna bagenda kukuzannyirako obulwe n’omutuufu akwagala. Gumiikiriza ojja kufuna omusajja anaakwagalira ddala. 

Omukazi yandoga? 

Nnina kye sitegeera bulungi. Ndi musajja mufumbo era naakabumalamu emyaka 11. Mukyala wange mmwagala era bwe tuba mu kaboozi emirimu gitambula bulungi. Kye nneewuunya bwe ng’endako ebbali mmalamu mangu akagoba ate oluusi amaanyi gambulidde ddala . Oluusi ndowooza nti osanga mukyala wange yandoga nga tayagala nfune bakazi balala. Ssenga nkole ntya?

Bw’oba mukyala wo omwagala bulungi era nga talina buzibu bwonna lwaki obeera onaayiza ab’ebbali. Ndowooza nti obutabeera na kwagala kujjuvu eri abakazi ab’ebweru kye kikuleetera okumalamu amangu akagoba. Mwana wange ebiseera bino ensi yatabuka kuba abantu balwadde. Lwaki oyenda? Obwenzi buveeko kuba obulwadde bungi.

Bannemesa omuwala

Nnalina omuwala gwe nnali njagala nga mulungi nnyo naye abantu ne bamunnemesa nga bagamba nti amaka mw’ava basezi ate balogo. Ssenga omuwala ono alina empisa, mulungi era buli mulenzi amulabako aba ayagala kumukwana.  Abantu abamanyi amaka g’omuwala ono be baasooka okung’amba ebintu bino wabula ne mbiwakanya okutuusa abantu abakulu lwe baatuma mukwano gwange ajje ang’ame omuwala mmuleke. Ssenga nkole ntya kuba ekituufu omuwala mmwagala? 

Sigaanyi omuwala ono omwagala naye ekintu bwe kiba kikugambiddwa abantu abawera ate nga mulimu n’abakulu kyandiba ekituufu. Mwana wange waliwo emize egitagumiikirizika mu bufumbo. Omuze gw’ebitambo n’obusezi, obubbi n’emirala mingi nga giri mu maka temuyinza kubaamu mirembe. Bagamba nti singa ozaala mu muntu alina ogumu ku mize gino guba gugenda kulumba baana. Munnange ggwe wandyagadde okuzaala abaana abasezi? Omuwala bwe baba bamukugaanyi mwesonyiwe ojja kufuna omulala kuba abalungi tebaggwaayo. 

Omusajja mmuviire?

baze alina abakyala babiri naye amaze emyaka etaano nga tadda wange. Ebbanga eryo mbadde mmanyidde okubeera nzekka era nga sikyafuna buzibu bwa bwagazi. Muggya wange ne baze baafuna obulwadde era bwe baakimanya kati baze andi bubi nti ayagala kudda mu maka gange. Nze ntya siriimu ate nkyayagala okukuza abaana bange. ssenga nkole ntya? 

Ndowooza balo anoonya muntu anaamujjanjaba mu bulwadde wabula olina okumwegendereza naawe n’atabukusiiga.  Kisoboka abafumbo okubeera bombi ng’omu mulwadde omulala nga mulamu.   Balo bw’aba ayagala kudda olina okumuteekako obukwakkulizo era bw’aba tasobola kubugumiikiriza oli wa ddembe okumuviira kuba oyagala okukuza abaana bo.

Omukyala mmukwane?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulabirizi  Bukomeko (ku ddyo), omulabirizi Wilson Mutebi, Minisita Nabakooba neKatuukiro wa Busoga, Joseph Muvawala.

Dr. Bukomeko ajaguzza omwak...

Omulabirizi wa Mityana, Dr. James Bukomeko alangiridde enkola, ey'okutandikawo ebintu ebivaamu ensimbi n'agamba...

Abakulembeze ba Rwampara ku mukolo.

Balaze ebiyinza okuvaako ab...

AKULIRA ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Rwampara, Muky. Kelen Tukamuhirwe ategeezezza nti ng'abayizi beetegeka...

Kkwiini ow'emyaka 94  ne bba Philip 99.

Ebintu 8 Kkwiini wa Bungere...

KKWIINI Elizabeth yagattibwa n'Omulangira Philip (mu kiseera kino ali ku ndiri mu ddwaaliro) nga November 20, 1947...

Fr. Anthony Kakumba Mwanje mu Mmisa eggulo.

'Mweyambise ekisiibo mudde ...

BWANNAMUKULU w'ekigo ky'e Kitovu  Fr. Anthony Kakumba Mwanje awabudde Abakristu ababadde beesambye Omukama olw'okwetaba...

Omulabirizi Kityo Luwalira ng'asaba eggulo mu Kkanisa ya St. Apollo Kivebulaaya  e Bukondo.

Mudde eri Katonda kubanga l...

OMULABIRIZI w'e Namirembe, Wilberforce Kityo Luwalira  akuutidde Abakulisitaayo okudda eri Katonda kubanga ly'ekkubo...