TOP

Omwami mmugambe?

Added 14th September 2011

Ssenga wano we binsoberedde. omusajja mmugambe ekituufu oba nkisirikire.  

olina okukimanya nti tosobola kukweka mwana nga ddala wuwo era luliba olwo omusajja n’akimanya. Kino mwana wange si kye nandikwagalizza naye okujjako ng’omwami wo muntumulamu nnyo naye bw’alikimanya kijja kumukol

Ssenga wano we binsoberedde. omusajja mmugambe ekituufu oba nkisirikire.  

olina okukimanya nti tosobola kukweka mwana nga ddala wuwo era luliba olwo omusajja n’akimanya. Kino mwana wange si kye nandikwagalizza naye okujjako ng’omwami wo muntumulamu nnyo naye bw’alikimanya kijja kumukola bubi si nakindi okwonoona obufumbo bwo. Ky’olina okukola kya kubuulira mwami wo mazima bw’aba nga ddala akwagala omukolo gujja kusigala gugenda mu maaso.

Omusajja yandekawo

Omwami wange yankwata n’omusajja omulala mu loogi n’anyiiga era kati takyakomawo waka wadde okutugulira emmere. Eky’okwenda nakikola kuba nange namusanga mu bwenzi. Lw’aba akomyewo ajja kulaba ku baana be n’agenda. Ssenga omusajja nkyamwagala era bye nnakola bwali busungu. Nkole ntya okumukomyawo?  


Munnange wakola ensobi okwenda. Kino tekiri ku musajja wo yekka  wabula abasajja batono abasobola okugumiikiriza obwenzi bwa bakyala baabwe. olina okukimanya nti omwami wo yanoba era okusinziira ku bw’onnyonnyodde sisuubira nti waliyo omuntu ayinza okukuwolereza. Sigaanyi n’abasajja benda era n’omwami wo wamusanga mu bwenzi naye omukyala aweebuuka nnyo nga y’akoze ekikolwa kino. Ky’olina okukola kya kwetondera mwami wo akusonyiwe.

Omwami mmugambe?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...

Poliisi ng'eri e Ssembabule okukkakkanya abalonzi ba NRM mu kamyufu gye buvuddeko

Abantu 45 be baafiiridde mu...

ABANTU 45 be bafiiridde mu buzzi bw’emisango obubaddewo wiiki ewedde obulese abalala 33 mu makomera.