TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba KCCA betemyemu ku by’enju ya Tinyefuza

Aba KCCA betemyemu ku by’enju ya Tinyefuza

Added 27th July 2011

Akabinja ka bakansala abawera 15 nga bakulembeddwa Angell

Akabinja ka bakansala abawera 15 nga bakulembeddwa Angella Kigonya (DP) ava e Lubaga, baatuuzizza olukiiko lwa bannamawulire ku Fair Way Hotel eggulo ne balumba akulira ekibuga nti yetumiikirizza okugoba Tinyefunza mu nnyumba ate nga yagitwaala mu butuufu “Twayisa dda ekiteeso ekiwa kkampuni ya Pearline Investments etwale ennyumba eyo era ekyo twakimala.

Mu kifo ky’okukola emirimu egikulaakulanya ekibuga, abamu ku bakungu ba KCCA bali mu mawulire bakaayana. Bino tubikooye,” kansala Kigoonya bwe yagambye. Kyokka Loodi meeya Lukwago yeewuunyizza bakansala bano okwekyusiza mu kiti ng’embazzi ku bintu bye baasalawo mu lukiiko gye buvuddeko nti ebintu ebyakolebwa mu bukyamu babinunule.

“Bulijjo ebiwandiiko bye basomye lwaki tebabireeta? Lwaki olukiiko baalutuuzizza ku Fair Way Hotel era ani yasasulidde ekifo? Byonna bye baayogedde si bya KCCA baabikoze ku lwabwe era mpise olukiiko tugenda kusalawo ku nsonga eno,” Lukwago bwe yagambye.

LUYIGA AYOGEDDE
Yawagiddwa kansala Bernard Luyiga owa Makerere eyagambye nti banne bye baayogedde ye tabimanyi ate ng’abadde mu kanso enkadde era ye awagira kye baasalawo mu lukiiko ennyumba bagyeddize kubanga yatwalibwa mu bukyamu.

Wabula bakansala abawera 14 baalaze ebiwandiiko ebiraga nti ennyumba yaweebwa kkampuni ya Pear line Investments. Kansala wa DP Joseph Mujuzi, yagambye nti enju yagabibwa July 20, 2010 mu lutuula lwa bakansala olwakubirizibwa eyali sipiika Shifra Lukwago nga ne Meeya Sebaggala yalulimu.

Ate Allan Ssewanyana (talina kibiina) yagambye emitendera egikkirizibwa mu mateeka okutwala enju eyo gyagobererwa. Baalaze ne lipooti eyakolebwa akulira okubalirira ebintu bya gavumenti mu KCCA, Gilbert Kermundu ng’ebalirira enju eno ssaako ebbaluwa y’eyali Town Clerk Ruth Kijjambu ng’alagira enju etundibwe.

Kermundu enju yagibalirira ku 3,346,000,000/- n’agattako n’ez’obusuulu bw’ettaka eziwera 624,000,000/- n’endala obukadde 15 okusasula buli mwaka. Enju eri ku ttaka yiika emu n’obutundu buna.

Kansala Joseph Mujuzi ne Allan Ssewanyana bagambye nti kikyamu Musisi okusazaamu buli kye yasanga bakansala abakadde kye baayisa n’agamba nti ekikolwa kino kyakuleetawo amabanja eri KCCA singa abagagga banaasalawo okutwala ekibuga mu mbuga.

Aba KCCA betemyemu ku by’enju ya Tinyefuza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...

Basse owa S3 ne balagirira ...

ABATEMU babuzizzaawo omuwala owa S3 okuva mu maka ga bakadde be ne bamusobyako oluvannyuma ne bamutta, omulambo...

Luzinda

Desire Luzinda tatudde!

OMUYIMBI Desire Luzinda abamu gwe baakazaako erya ‘Kitone’ naye nno tatuula. Bwe yabadde agogera ku bulamu bwe...