TOP

SSENGA ADDAMU EBIBUUZO BYO

Added 26th July 2011

Ssenga nnina kizibu ki?

Obusajja okubeera obutono si kizibu kya maanyi nnyo naddala bw’oba omanyi obukodyo bw’okubukozesaamu.  Abasajja abalina ekizibu kino basinga kukaluubirirwa nga bagenda okwegatta ne bakyala baabwe nga balowooza nti tebasobola kubamatiza, ekintu ekitali kituufu.

Ssenga nnina kizibu ki?

Obusajja okubeera obutono si kizibu kya maanyi nnyo naddala bw’oba omanyi obukodyo bw’okubukozesaamu.  Abasajja abalina ekizibu kino basinga kukaluubirirwa nga bagenda okwegatta ne bakyala baabwe nga balowooza nti tebasobola kubamatiza, ekintu ekitali kituufu.
Bw’oba omanyi okwecangira obulungi mu kisaawe ng’osamba omupiira kitegeeza osobola bulungi okumatiza mukyala wo nga bw’ayagala.
Kale mwana wange kino tekisaanye kukumalako mirembe.

Abantu be bantamye

Mukyala wange aleeta abantu be awaka era buli lunaku tubeera mu bagenyi ate bamalawo nga wiiki nnamba, oluusi mwezi. Nnamugambako ku nsonga eno nga ndaba kiyitiridde nga ne ssente zitandise okukendeera naye ye agamba nti abantu be balina okukyala. Ekizibu ekiriwo buli akyala bw’atuuka okugenda ang’amba mmuwe ssente z’entambula. Ssenga, embeera eno mpulira ngikooye kuba tulemeddwa n’okwezimba olwa ssente ze tufulumya. Nnyamba, omukazi mmukolere ki?
Joshua
Edda okukyaza abagenyi kyabanga kya ssanyu awaka naye ennaku zino naddala mu bibuga kyafuuka kizibu. Abantu abasinga naddala ebiseera bino okulya kyafuuka kizibu kuba buli kintu kya buseere.
Kale omuntu okuliisa famire ennene alina okuba ng’ayingiza ssente nnyingi olunaku.
Simanyi nfuna yammwe naye w’otuukidde okuwandiika nga kirabika enfulumya yo esusse ku nnyingiza yo. Yongera okwogera ne munno omutegeeze obuzibu bw’oyitamu n’engeri gy’ofulumyamu ssente. Mmanyi nti ajja kukitegeera agambe ku bantu be.

Nkole ntya okufuna enkwaso
Omusajja gwe nnina ayagala nnyo okuzaala omwana naye mulwadde wa siriimu ate nze bankebera nga ndi mulamu. Mpulira nti basobola okuggya mu musajja enkwaso ne bazikuba omukazi n’afuna olubuto. Ssenga osobola okundagirira omusawo ayinza okunkolera kino?

Obuzibu bw’olina bunene kyokka osobola okubuvvuunuka. Abafumbo bangi ennaku zino beesanga ng’omu ku bo mulwadde ate ng’omulala mulamu naye ne babeera bombi. Nsooka okukwebaza nti osobodde okugumira omwami wo n’okumuwa ekyo kye yeetaaga wadde ng’okimanyi nti alina akawuka. Mugende mu ddwaaliro eddene mulabe omusawo omukugu mu by’abakyala ajja kukuwa amagezi agasingawo era bw’okisanga ng’oli mulamu munno mubuddeebude okusinga okumuddukako.

Okola otya okumatiza omukazi?
Ssenga okwegatta n’omukazi n’anyumirwa  era n’asigala ng’amatidde okola otya? Mbaddeko n’abawala abawerako naye bagamba sibamatiza ate nga ndaba nneemalamu.

Mwana wange okwegatta n’omukazi n’anyumirwa kyetaagisa ebintu bingi. Ekisooka alina okuba ng’akwagala. Buli lwe weegatta n’omuntu akwagala ne by’okola byonna birina kumunyumira. Ekirala alina okuba ng’a kye mugendako akitaddeko ebirowoozo bye byonna. Kino kye kimu ku biyamba omukazi okumatira akaboozi n’okutuuka ku ntikko. Kuno kw’ogatta okukozesa obukodyo obwenjawulo nga munyumya akaboozi ebimuyamba okusumulukuka.

Okukomba ebbakuli kulina obuzibu?
Ekimu ku bintu ebisinga okunnyumira nga tunyumya akaboozi kwe kukomba ebbakuli ya mukyala wange. Wabula kye simanyi oba nga kirina obuzibu era bwe bubaawo, buzibu ki?

Kano akakodyo abaagalana bakakozesa nnyo ennaku zino. Ekisooka ke kamu ku bukodyo obusinga okusumululu omukyala kuba munne aba amutuuka mu bimu ku bitundu omusibuka obusimu. Ebiseera ebisinga omusajja bw’akomba ebbakuli kiba kizibu mukyala we obutatuuka ku ntikko oba okusigala nga tamatidde. Ne ku musajja kalungi nnyo kuba kamwanguya okulwa mu kisaawe.  Kyokka kyandibadde kirungi n’okakozesa ku muntu gwe weekakasa obulungi nti tabaliga.
Ekirala olina okufuba okulaba nga munno muyonjo okwewala endwadde.

SSENGA ADDAMU EBIBUUZO BYO

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakooza Mutale

Mutale awabudde Museveni: '...

MAJ. Kakooza Mutale awabudde Pulezidenti Museveni nti ekya NRM okuwangulwa mu Buganda si kubeera basosoze mu mawanga,...

Katebalirwe

'Gavumenti yabadde ntuufu o...

AKAKIIKO k'eddembe ly'obuntu kayise ba agenti b'abeesimbyewo abaakwatiddwa oba okutaataaganyizibwa ku lunaku lw'okulonda,...

Ssebunnya

Ssebunnya alambuludde ebyas...

OMUWABUZI wa Pulezidenti Museveni ku nsonga za Buganda, Robert Ssebunnya avuddeyo n'ayogera ku mbeera y'ebyokulonda...

Nabirah.

Omuliro mu kalulu ka Bammeeya

BANNAKAMPALA basuze mu keetereekerero okulonda Loodi Meeya wabula ekibuuzo ekiri mu bantu kiri kimu: Erias Lukwago...

Bano baabadde ku boodabooda nga batwala omulwadde mu ddwaaliro.

Basonze ku kyasuddeMuseveni...

ABATUUZE mu disitulikiti y'e Mayuge n'abakulembeze boogedde lwaki Robert Kyagulanyi Ssentamu ‘Bobi Wine' owa NUP...