Abajaasi ba Uganda ne Burundi abali wansi wa AMISOM abali mu Somalia tebalina nnyonyi kyokka Amerika erina emmeeri enneetissi z’ennyonyi mu Liyanja lya Buyindi (Indian Ocean) era kiteeberezebwa nti ku mmeeri zino ennyonyi kwe zaavudde.
Omuwendo gw’abalwanyi ba al Shabaab abattiddwa n’okulumizibwa tegunnamanyika kyokka abantu baabulijjo ku mwalo gw’e Kismayu baatenze amaanyi ennyonyi ze gaakubisa aba al Shabaab n’okubwatuka okw’amaanyi okwa bbomu n’ebikompola.
Sheikh Hassan Yacqub, omwogezi wa al Shabaab mu kibuga Kismayu yakkiriza nti baalumbiddwa era ne bakubwa ennyonyi ezitannamanyika n’agamba nti abalwanyi baabwe bangi baalumiziddwa.Amerika yalangirira olutalo ku ba al Shabaab era palamenti yaayo yakkiriza gavumenti okukola ennumba ez’ekyama mu Somalia nga kyetaagisizza.
 Aba al Shabaab nabo baalangirira olutalo ku Amerika n’amawanga agateetera ne Amerika omuli ne Uganda era beewaana nga bwa baatega bbomu mu Uganda nga July 11, 2010 omwafiira abantu 76.
 Abatujju ba al Shabaab abali mu lutalo n’amagye ga Uganda aga AMISOM agali mu Somalia okukuuma emirembe era gatera okukola ennumba ne batta abajaasi ba Uganda.
Wabula amagye ga AMISOM nago gasobodde okulemesa aba al Shabaab okukola obutujju era gasobodde okubawambako ebitundu bingi naddala mu kibuga Mogadishu.
Â
Â
Ennyonyi z’Amerika zikubye aba al Shabaab mu Somalia