TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Amannya g’abajaasi ba Updf abaafiiridde e Somalia gafulumiziddwa

Amannya g’abajaasi ba Updf abaafiiridde e Somalia gafulumiziddwa

Added 6th June 2011

Abajaasi bana okuli b’ofiisa babiri battiddwa abatujju ba Al Shabaab ku Ssande bwe baabadde balambula enfo aba AMISOM n’eggye ly’eggwanga erya TFG bye baakawamba.

Baasoose mu lutalo n’abatujju okukkakkana nga UPDF ebabawambyeko disitulikiti y’e Bondere ate aba Burundi ne bawamba disitul

Abajaasi bana okuli b’ofiisa babiri battiddwa abatujju ba Al Shabaab ku Ssande bwe baabadde balambula enfo aba AMISOM n’eggye ly’eggwanga erya TFG bye baakawamba.

Baasoose mu lutalo n’abatujju okukkakkana nga UPDF ebabawambyeko disitulikiti y’e Bondere ate aba Burundi ne bawamba disitulikiti y’e Hodan.

Nkola y’amagye, okulambula ekifo  kyonna ekiba kiwambiddwa amangu, b’ofiisa bazze okulambula enfo ezinunuddwa kyokka baabadde bakyeyozaayoza Al Shabaab n’erumba  emmundu n’eddamu okuvuga.

Mu kulwana kuno, Lt. Col. Patrick Tibihwa ne banne abalala bana mwe battiddwa. Ekiwandiiko ekyafulumiziddwa aba UPDF eggulo kyategeezezza nti Tibwiha yattiddwa essasi eryawabye n’afiirawo. Tibihwa azaalibwa Nyamahunza-Bukonzo mu disitulikiti y’e Kasese.

Ate Lt. Lawrence Tugume abadde omulwanyi w’omu ttanka yakubiddwa ekikompola n’abalala babiri okuli  Cpl. Abdalla Isabirye ne Pte. Augustine Kuloba. Tugume azaalibwa Rwozi II mu disitulikiti y’e Kiruhura, Cpl Isabirye azaalibwa Kirasa mu disitulikiti y’e Masindi ate  Pte. Kuloba azaalibwa Bududa.

Aba Al Shabaab baategeezezza omukutu gw’amawulire ogwa Shabelle nti bayokezza ttanka za AMISOM kyokka omwogezi Maj. Paddy Ankunda yagambye nti oyo pokopoko.

Maj. Ankunda yagambye nti tewali ttanka yakubiddwa okuggyako ttulakita erima ekkubo eyakubiddwa amasasi n’ekwata omuliro kyokka yanunuddwa era kati bagitereeza.

Eggulo omukungu wa AU Wafula Wamunyinyi yakyalidde abajaasi abaalumiziddwa mu kulwana n’abagumya nti abasawo baabwe bajja kukola obutaweera okubajjanjaba.

Amannya g’abajaasi ba Updf abaafiiridde e Somalia gafulumiziddwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaserikale nga bawaayo ebyambalo.

Aba SPC bawaddeyo ebyambalo...

ABASIRIKALE 200  abaateekebwawo okuyambako mu biseera by'okulonda bazizzaayo ebyambalo bya poliisi abamu  nga...

Aba NUP nga bawaga e Kamwokya.

Aba NUP si bamativu ku miso...

ABAKULEMBEZE b'ekibiina kya National Unity Platform (NUP) bavuddeyo ku misolo emipya egiteekebwateekebwa gavumenti...

Zaake ng'ayogera e Kamwokya.

Omubaka Francis Zaake awera

Omubaka Francis Zaake akiikirira munisipaali y'e Mityana era nga ye mukulembeze w'abavubuka mu NUP, alojjedde Bannakibiina...

Kayongo ng'annyonnyola.

Nkyali mukulembeze w'akatal...

Abadde ssentebe w'akatale ka St.Balikuddembe, Godfrey Kayongo ategeezeza nti akyali mukulembeze w'abasuubuzi b'ekibiina...

Abakugu nga balaga ekyuma ekifuyiira n'okutta obuwuka bwa Covid 19.

Bakoze ekyuma ekifuyiira n'...

Abakugu mu bya tekinologiya okuva mu ggwanga lya Romania nga bali wamu n'ab'ekitongole kya Good Care baliko ekyuma...