TOP

Poliisi ekutte omufere

Added 6th June 2011

Omusajja ono Tom Mukomazi ng’abeera  Kabowa agambibwa nti alina abantu bangi abamunoonya ku misango egimuvunaanibwa mulimu ogw’obukadde 16 bwe yabuzaabuza omusuubuzi w’engatto amanyiddwa nga Taban Tumukunde ng’amugambye nti alina konteyina y’engatto e Nakawa olwo ng’ayagala Tumukunde az

Omusajja ono Tom Mukomazi ng’abeera  Kabowa agambibwa nti alina abantu bangi abamunoonya ku misango egimuvunaanibwa mulimu ogw’obukadde 16 bwe yabuzaabuza omusuubuzi w’engatto amanyiddwa nga Taban Tumukunde ng’amugambye nti alina konteyina y’engatto e Nakawa olwo ng’ayagala Tumukunde azimuwe agisasule olwo Mukomazi amukubisizeemu amagoba ng’agiggyeyo kyokka bwe yazimuwa yabula bubuzi.

Emisango emirala mulimu ceeke ey’ekikwangala ya bukadde busatu n’ekitundu ng’omusango guno guli ku kitebe kya bambega e Kibuli.

Ku kitebe kya poliisi era alinayo omusango gwa bukadde mwenda ezigambibwa nti yazeewola ku musajja eyeeyita Kansiime n’amuwa kaadi ya mmotoka wabula Kansiime yazuula luvannyuma nga kaadi ya kicupuli.

Yagguddwaako omusango gw’obubbi ku poliisi eno ku fayiro nnamba SD:19/03/06/2011. Mukomazi yeekoledde obusolo ku poliisi bwe yeefudde aguddemu akalogojjo n’atandika ng’ab’amawulire bamukuba ebifaananyi.

Poliisi ekutte omufere

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abazannya ‘Bizzonto’ nga beegezaamu.

Abazannya komedi wa 'Bizzon...

POLIISI ezzeemu okukwata abasajja abazannya komedi wa ‘Bizzonto’ ne basimbibwa mu kkooti ya Buganda Road gye babasomedde...

Kluthum

Kluthum ayogedde ku katambi...

MUKYALA wa Sheikh Muzaata Batte, Kluthum Nabunnya ayogedde ku katambi akaamutabula ne bba bwe yali ayogera ne ‘hawusibooyi.’...

Bannamateeka ba Kyagulanyi okuli Medard Lubega Sseggona ( ku kkono), Muwanda Nkunnyingi ne Sam Muyizzi.

Kkooti esazeewo ku gwa Kyag...

KKOOTI ekkirizza Kyagulanyi okuggyayo omusango gw’obululu gwe yawaaba wabula abalamuzi baakuwa ensala yaabwe ku...

Siraje Kiyemba Expert ng’alaga ebirabo by’atunda.

Kaadi n'ebirabo byongereko ...

OBADDE okimanyi nti ekirabo ky’otunda okwagaliza omuyizi okukola obulungi ebibuuzo eby’akamalirizo osobola okukyongerako...

Sheikh ng'annyonnyola okutalaka mu Busiraamu.

▶️ TAASA AMAKAGO: OKUTALA...

TAASA AMAKAGO: OKUTALAKA MU BUSIRAAMU KYE KI?