Omulamuzi ataddewo olwa June 20, 2011 okutandika okuwulirako omusango guno era ategeezezza nti singa olunaku luno lutuuka ng’enjuyi zombi tezikaanyizza, Kasta aleete abajulizi 24, abalumiriza Bukenya basobole okubuuzibwa ebibuuzo.
Olwo nga June 21, Bukenya naye alagiddwa okweyanjula bannamateeka ba Kasta bamubuuze ebibuuzo ku bye yeewozaako.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda, Ying. Badru Kiggundu naye waakubuzibwa ku by’agamba nti okulonda kwagoberera amateeka.
Kkooti yaaku-salawo oba akakiiko k’ebyokulonda teka-agoberera mateeka nga kategeka okulonda, era oba kino kirina kye kyakosa mu byava mu kulonda.
Kuno omulamuzi kw’anaasinziira oku-laba oba asazaamu ebyava mu kulonda kuno oba nedda.
Omulamuzi asazeewo ku gwa Bukenya