TOP

Omukyala tayagala kujja kundaba

Added 6th June 2011

Ssenga mukyala wange mmukolere ki? Med

Mwana wange omukwano gw’ewala muzibu nnyo era munno bw’aba takwagala bulungi omukwano guno gusoboola okuggwaawo amangu. Sitegedde oba mukyala wo e Kampala gy’ali akola naye bw’aba takola siraba nsonga ebagaana kubeera mwembi. Ekirala okutegee

Ssenga mukyala wange mmukolere ki? Med

Mwana wange omukwano gw’ewala muzibu nnyo era munno bw’aba takwagala bulungi omukwano guno gusoboola okuggwaawo amangu. Sitegedde oba mukyala wo e Kampala gy’ali akola naye bw’aba takola siraba nsonga ebagaana kubeera mwembi. Ekirala okutegeeragana kikulu nnyo mu bufumbo naye mmwe mulabika temutegeeragana mu bintu ebimu. Mulina okutuula ne mwogera ku nsonga eno nga muli mwembi era ne mugisalira amagezi kuba obufumbo bwammwe buyinza okusattulukuka.

Bwe mba olubuto mbulwa amazzi
nnina ekizibu. Ndi mukyala mufumbo naye bwe mbeera olubuto mbulwa amazzi g’ekyama ate nga bwemba sirulina mbeera bulungi. Ssenga olowooza kiva ku ki? Era nkole ntya okuva mu kizibu kino?

Mwana wange buli mukazi olubuto lumuyisa bubwe. Abakyala abamu bwe babeera olubuto baba baagala nnyo okwegatta era obwagazi bubeera bungi. Ate abalala baba tebaagala na kulaba ku basajja baabwe era obwagazi bwabwe bubeera butono. Oluusi  kino kijjawo kiseera naddala olubuto nga lukyali mu biseera we lutawaanyiza ennyo. Kati olina okwetegereza omukwano gw’oba olina eri munno naddala mu kiseera kino. Naye nsuubira nti omwami wo kino ayinza okukitegeera kuba ogambye bw’oba tolina lubuto obeera bulungi. Eby’okunoonya eddagala biveeko kuba lubuto lwe lubeera lukutawaanya.

Nkole ntya okufuna enkwaso
Omusajja gwe nnina ayagala nnyo okuzaala omwana naye mulwadde wa siriimu ate nze bankebera nga ndi mulamu. Mpulira nti basobola okuggya mu musajja enkwaso ne bazikuba omukazi n’afuna olubuto. Ssenga osobola okundagirira omusawo ayinza okunkolera kino?

Obuzibu bw’olina bunene kyokka osobola okubuvvuunuka. Abafumbo bangi ennaku zino beesanga ng’omu ku bo mulwadde ate ng’omulala mulamu naye ne babeera bombi. Nsooka okukwebaza nti osobodde okugumira omwami wo n’okumuwa ekyo kye yeetaaga wadde ng’okimanyi nti alina akawuka. Mugende mu ddwaaliro eddene mulabe omusawo omukugu mu by’abakyala ajja kukuwa amagezi agasingawo.

Taata w’abaana mmukole ntya?
Nnina omusajja eyankwana n’ansuubiza okunziza mu ssomero. Kati tulina omwana naye agamba nti okutuukiriza kye yansuubiza nnina kusooka kumwanjula waffe n’embaga emala kuggwa. Ssenga okusoma nkwagala nnyo naye n’omusajja wange mmwagala. Nkole ntya?

Omwami wo alabika akwagalira ddala. Mwana wange abasajja abasinga basuubiza ne batatuukiriza naye owuwo alabika si ky’aliko. Omanyi abawala abamu bwe bafuna omukisa gw’abasajja okubazza mu ssomero, olumaliriza emisomo ate nga bafuna abasajja abalala. Kino kirabika kye kitiisizza omwami wo era y’e- nsonga lwaki ayagala kusooka kukufuna mu butongole alyoke akuzze mu ssomero. Ekirala oli waamukisa nnyo okufuna omusajja bwati kuba abasajja b’ennaku zino batya nnyo obuvunaanyizibwa era batono abeesalirawo okuyingirira obufumbo. N’olwekyo mwana wange balo alabika talina bigendererwa bibi era ng’ekimukozesa kino lwakuba akwagala.

Lwaki mmalamu mangu akagoba?
Bwe nneegatta ne mukyala wange mmalamu mangu akagoba. Ssenga waliwo engeri gye nsobola okuvvuunukamu ekizibu kino kuba mpulira bintamye.

Okumalamu amangu akagoba kyabulijjo era kituuka ku bavubuka bangi. Ekitera okuleetawo kino ge maddu omusajja g’aba nago ng’agenda okwegatta. Buli musajja lw’afuna obwagazi obungi, obwagazi bwe bweyongera ekimuviirako okumalamu amangu akagoba.
Wabula gy’okoma okukula n’obwagazi bugenda bukendeera mpola. Ekisinga okuleetawo embeera eno mu basajja lwakuba beefaako bokka. Bwe babeera mu kisaawe tebafaayo kulaba oba ne bannaabwe mu muzannyo mwe bali. 
Kale mwana wange weetegereze bino osobole okumalawo embeera eno. Ekirala abantu be weegatta nabo bakola kinene nnyo ku mbeera eno.

Omukyala tayagala kujja kundaba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fred Bamwine ng’akwasa Ndisaba ekitabo ky’ensonga z'e Mukono.

Ndisaba akwasiddwa ofiisi

Bya JOANITA NAKATTE                                                                                           ...

David Kabanda (ku ddyo) omubaka wa Kasambya, Haji Bashir Ssempa Lubega owa Munisipaali y’e Mubende ne Micheal Muhereza Ntambi, ssentebe wa disitulikiti y’e Mubende nga bawayaamu.

Abaalondeddwa ku bubaka mu ...

ABAAWANGUDDE ebifo by’ababaka ba palamenti ku kaadi ya NRM mu konsitityuwensi ez’enjawulo mu Disitulikiti y’e Mubende...

Matia Lwanga Bwanika owa Wakiso.

Ssentebe afunira mu nsako

Eyali Sipiika wa Jinja munisipaali oluvannyuma eyafuulibwa City, Moses Bizitu yategeezezza nti bassentebe ba disitulikiti...

Bakkansala ba Kampala nga bateesa mu City Hall gye buvuddeko.

Omusaala ogulindiridde aba ...

Bya MARGARET ZALWANGO OKULONDA kwa bassentebe ba Disitulikiti, bammeeya b'ebibuga (cities) ne bakkansala b'oku...

Omulabirizi Luwalira ng'asimba omuti.

Ekkanisa ne bwekwata omulir...

Omulabirizi w'e Namirembe, Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira agumizza Abakristaayo nti wadde sitaani asiikudde...