TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ababaka ba palamenti balayiziddwa wakati mu mizira

Ababaka ba palamenti balayiziddwa wakati mu mizira

Added 16th May 2011

ABABAKA abasukka mu 120 be baalayiziddwa olunaku lw’eggulo wakati mu mizira okuva mu bawagizi baabwe.Ababaka baalayiziddwa wakati mu kwerinda okw’amaanyi n’obukwakkulizo obwassiddwawo abakulira palamenti ng

ABABAKA abasukka mu 120 be baalayiziddwa olunaku lw’eggulo wakati mu mizira okuva mu bawagizi baabwe.Ababaka baalayiziddwa wakati mu kwerinda okw’amaanyi n’obukwakkulizo obwassiddwawo abakulira palamenti nga buli mubaka bakira bamukkiriza okuyingiza abantu bataano bokka abalala abaabawerekeddeko baagaaniddwa okuyingira ne balinda wabweru wa Palamenti gye baasigadde nga bayimba ennyimba eziwaana abantu baabwe.

Polof. Gilbert Bukenya, abadde omumyuka wa Pulezidenti yasuubizza okugenda mu maaso ne Pulogulaamu ez’okukunga abantu b’omu byalo okulwanyisa obwavu.

Yagambye nti mu kisanja ekiwedde yakunga abantu okulima omuceere, nga ku luno agenda kukunga ab’omu byalo okuzimba obubuga mu byalo gavumenti esobole okubatuusaako enkulaakulana.

Bukenya yagambye nti ne bw’anaaba taweereddwa mukisa kuddamu kubeera mumyuka wa Pulezidenti ajja kugenda mu maaso n’emirimu gye egy’okukulaakulanya Busiro North.

Bwe yabuuziddwa oba mwetegefu okuddamu okuweereza ekisanja ekirala ng’omumyuka wa Pulezidenti singa aweebwa omukisa, Bukenya yagambye nti mwetegefu. Kyokka n’agamba nti Pulezidenti y’alina obuyinza obusembayo okumulonda era akakasibwe palamenti olw’obusobozi bwe sso ssi lwa kuba yegwanyiza ekifo kino. N’agamba nti omuntu alondebwa ku bumyuka bwa pulezidenti lwakuba aba awulira mukama we (Museveni) nga tamulyamu nkwe n’okuwagira ekibiina kya NRM.

Muky. Rebecca Kadaga, asuubirwa okusikira Edward Sekandi ku bwa Sipiika yasuubiza okukubiriza Palamenti obulungi awatali kyekubira n’okussaawo enkolagana ennungi wakati wa Palamenti n’abantu baabulijjo.

Kyokka omubaka Odonga Otto (Aruu) yagambye nti awakanya eky’okuwa Omukristaayo Rebecca Kadaga obwa sipiika ate n’amyukibwa omulala Jacoub Oulanya ow’eddiini yeemu ng’ate Konsityusoni y’eggwanga ekirambika bulungi ebifo ebinene mu gavumenti ebisooka birina okugabanyizibwa kyenkanyi mu ddiini n’amawanga.

Ssaabawandiisi wa NRM Amama Mbabazi yagambye nti Palamenti egenda kussa mu nkola Manifesito ya Pulezidenti Museveni nga bayita mu kuiysa amateeka n’ebiteeso ebigasa abantu.

Ababaka ba palamenti balayiziddwa wakati mu mizira

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.