TOP

Aba NRM balonze Kadaga

Added 15th May 2011

Akafubo ka Pulezidenti Museveni n’ababaka ba Palamenti kaatandise mu ssaawa 11 mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe ne katuukira ekiro

Ekifo kya Sipiika n’omu-myuka we bijjuzibwa ku Lwokuna nga May 19 mu lutuula lwa Palamenti eyomwenda olunaasokera ddala ng’ababaka 375 abapya

Akafubo ka Pulezidenti Museveni n’ababaka ba Palamenti kaatandise mu ssaawa 11 mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe ne katuukira ekiro

Ekifo kya Sipiika n’omu-myuka we bijjuzibwa ku Lwokuna nga May 19 mu lutuula lwa Palamenti eyomwenda olunaasokera ddala ng’ababaka 375 abapya bamaze okukuba ebirayiro ku Mmande, ku Lwokubiri ne ku Lwokusatu.

Ssaabalamuzi wa Uganda, Benjamin Odoki y’asuubirwa okukubiriza olutuula luno ababaka bwe banaalondera Sipiika ate oluvannyuma Sipiika omupya atuule mu ntebe akubirize okulondebwa kw’omumyuka we.

Pulezidenti Museveni yayise ababaka b’akabondo ka NRM e Ntebe ng’ayagala bakkaanye ku mannya, bagende mu Palamenti ku Lwokuna nga batuusa mukolo.

Ababadde baagala ekifo kya Sipiika kuliko Sekandi, Kadaga, Maj. Gen. Jim Muhwezi (Rujumbura) ng’abo ba NRM ate Nandala Mafabi (Budadiri West) owa FDC ekifo agamba nti akisobola era afungizza okukitwala.

Kyokka oluvannyuma Muhwezi yakyusizza n’adda ku kya bumyuka bwa sipiika avuganye n’aba NRM, Peter Nyombi (Nakasongola), Wilfred Nuwagaba (Ndorwa East) ne Odonga Otto (Aruu) owa FDC. Nyombi ye yabadde alina enkizo ku anaavuganya ku bumyuka bwa Sipiika ku kaadi ya NRM.

Akafubo k’eggulo we kaatandikidde nga Sekandi ne Kadaga buli omu agamba nti tajja kulekera munne era nga bawera nti waakiri akalulu kanaasalawo ku Lwokuna.

Kyokka oluvannyuma bwe baasazeewo nti bagende mu kalulu, Ssekandi n’ateesimbawo olwo Kadaga n’ayitamu nga tavuganyiziddwa ne basigaza kulonda anaavuganya ne Otto ku bumyuka bwa sipiika.

Kadaga abadde akuba kampeyini ey’obwasipiika okuva mu March kyokka ye Sekandi yalangiridde wiiki ewedde nti ekifo akyagala.

Obuwagizi bwa Sekandi bubadde businga mu babaka abadde ba Minisita n’ababaka abava mu Buganda ate nga Kadaga alina obuwagizi mu bakyala, ababaka ab’oludda oluvuganya n’abava mu bitundu eby’obuvanjuba.

Museveni mu kwogera yeebazizza Sekandi olw’omulimu gw’akoledde NRM mu kiseera ky’amaze nga Sipiika era n’amusuubiza nti ajja kumuwa ekifo ekirala mu Gavumenti.

EBITONOTONO KU BAVUGANYA KU BWASIPIIKA

Rebecca Alitwala Kadaga ow’emyaka 55, yazaalibwa 24, May, 1956 mu Disitulikiti y’e Kamuli. Yasoma mateeka mu Yunivasite e Makerere era agalinamu diguli bbiri. Y’abadde omumyuka wa Sipiika okuva mu 2001. Yaliko Minisita mu kifo eby’enjawulo wakati wa 1996 ne 2001.

Nandala Mafabi yazaalibwa January 17, 1966 e Sironko mu Bugisu. Yasoma byanfuna n’okubala ebitabo era alina diguli bbiri.

Y’abadde ssentebe w’akakiiko akalondoola ensaasaanya ensimbi mu Gavumenti akaazuula emivuyo n’obubbi bwa ssente mu lukiiko lwa CHOGM Uganda lwe yatuuza mu 2007. Yakolako mu kitongole ky’ebyemisolo (URA) ne mu Minisitule y’ebyensimbi nga tannayingira byabufuzi mu 2001.

 

 

Aba NRM balonze Kadaga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...