Bino yabyogedde atongoza kkampuni ya Vero Food Industries Limited (VFIL) egenda okukola amazzi n’omuceere e Namanve mu kibangirizi ky’abamakolero.
Aba kkampuni ya Quality Chemicals beebagitaddemu ssente era ssentebe w’olukiiko lwa badayirekita Emmanuel Katongole emikolo yeeyagibadde mu mitambo. Erina obusobozi obukola obucupa bw’amazzi 42,000 buli lunaku.
Museveni yategeezezza ababaddewo omwabadde ab’a Bbanka, bannamakolero n’abasuubuzi abalala nti ebyabeerangawo mu myaka gya 1960 gavumenti okubowa ebintu by’abagagga byadibizibwa beekolere mmaali.
Museveni agumizza abagagga abakolera kuno