TOP

Aba Gaddafi baasiibye balwana e Misirata

Added 4th May 2011

E Misrata abajaasi ba Gaddafi bakira abakozesa  emizinga baasesebudde omwalo  kumpi kulemesa mmeeri eyabadde epangisiddwa aba NATO okunonawo abantu kyokka oluvannyuma aba NATO baaweerezza ennyonyi ne zibatimpula ne babuna emiwabo olwo omwalo ne gufunawo ku kalembereza n’emmeeri n’egoba.

E Misrata abajaasi ba Gaddafi bakira abakozesa  emizinga baasesebudde omwalo  kumpi kulemesa mmeeri eyabadde epangisiddwa aba NATO okunonawo abantu kyokka oluvannyuma aba NATO baaweerezza ennyonyi ne zibatimpula ne babuna emiwabo olwo omwalo ne gufunawo ku kalembereza n’emmeeri n’egoba.

Ennyonyi we zaatuukidde ng’abayeekera eddwaaniro litandise okubakeeka kyokka nga baaganye okupondooka.

Mu kibuga ky’e Zantan nayo abajaasi abaabadde balwanyisa obumalirivu baasiibye bakubagana   n’abayeekera kyokka we bwazibidde ng’enjuyi zombiriri zikyakubagana. Abayeekera baabadde nabo bakozesa ebikompola okukuba abamagye kyokka nga nago gaanukuza olulimi lw’erumu.

Ye Gaddafi tamanyiddwa wa gy’ali okuva bbomu za NATO lwe zaakubye Olubiri lwe ku Lwomukaaga ne zitta mutabaniwe n’abazzukulu basatu.

Omwogezi w’abayee-kera  Gemel Salem yategeezezza nti baabadde bakabalako emirambo gy’abantu babulijo etaano egyattiddwa ebikompola by’amagye ga Gaddafi ge yagambye nti obwedda gakuba muwawa.

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

Aba Gaddafi baasiibye balwana e Misirata

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...