TOP

Amerika ye yasooka okutendeka Osama Laden

Added 2nd May 2011

Obuzaale Osama bin Laden , erinnya lye mu Luwarabu lyatulwa ‘Usamah bin Muhammad bin Awad bin Ladin’ yazaalibwa mu kibuga Riyadh, mu Saudi Arabia. Kitaawe Mohammed bin Awad bin Laden yali mugagga ffugge ng’alina enkolagana n’olulyo olulangira olufuga Saudi Arabia. Osama bin Laden yazaalibwa

Obuzaale Osama bin Laden , erinnya lye mu Luwarabu lyatulwa ‘Usamah bin Muhammad bin Awad bin Ladin’ yazaalibwa mu kibuga Riyadh, mu Saudi Arabia. Kitaawe Mohammed bin Awad bin Laden yali mugagga ffugge ng’alina enkolagana n’olulyo olulangira olufuga Saudi Arabia. Osama bin Laden yazaalibwa omu, mu bufumbo bwa kitaawe Muhammed bin Laden ne mukyala nnamba kkumi, Hajjati Hamida al-Attas.

Ye mwama owa 17 mu baana 52 aba kitaawe Mohamed Bin Laden. Kitaawe yalina kkampuni enzimbi y’enguudo eyali esinga obunene mu Sauda Arabia ebiseera ebyo. Kkampuni ya kitaawe ye yazimba enguudo ebitundu 80 ku 100 ez’omu Saudi Arabia

Nnyina wa Osama yayawukana ne bba nga Osama wa myezi ng’ena gyokka n’afumbirwa omusajja omulala ayitibwa Muhammad al-Attas ng’Obama wa mwaka gumu. Mu bufumbo obwokubiri, nnyina yazaalayo abaana abalala bana okuli abalenzi babiri n’omuwala omu.

Kitaawe, Muhammed bin Laden, yafa mu 1967 mu kabenje k’ennyonyi mu Saudi Arabia nga Obama wa myaka kkumi. Mukulu we, Salem bin Laden, eyali asikidde kitaabwe naye yafiira mu kabenje k’ennyonyi e San Antonio, mu ssaza ly’e Texas mu Amerika mu 1988 olwo Obama n’asikira obugagga bwa famire obubalirirwa mu ddoola za Amerika ezisukka mu 300.

Okusoma kwe Wakati wa 1968 ne 1976 yali ku ssomero eriyitibwa Al-Thager Model School erimu ku masomero ag’abaana b’abagagga mu Saudi Arabia kubanga lyali lisomesa Olungereza n’eddiini.

Yunivasite yagisomera mu King Abdulaziz University gye yasomera eby’enfuna n’obusuubuzi.
Abaasoma ne Osama bagamba nti yali muvubuka mugezi nnyo mu kibiina era musirise nnyo. Yali wa kisa ekitiriika era ng’alina eddiini y’amaanyi ng’ebiseera bye ebisinga abimala ku kusoma Kulaani n’ebitabo by’eddiini naddala ebikwata ku ntalo ez’obusiraamu (Jihad).

Yali muwandiisi w’ebitontome. Bwe yava ku Yunivasite ya King Abdulaziz n’agenda ku Yunivasite endala n’asoma ddiguli mu bwayinginiya n’agimaliriza mu 1979. Yaddako n’asoma ddiguli endala mu kukulembera abantu n’atikkirwa mu 1981.

Obufumbo bwe Osama Bin Laden yawasa mukazi we asooka Najwa Ghanem mu 1974, (ku myaka 17) Wafiiridde, Obama abadde yakawasa abakazi bana kyokka ng’omuwendo gw’abaana be gutankanibwa, Waliwo abagamba nti abadde n’abaana 26 ate abalala ne balumiriza nti alina abanaana abali wakati wa 12 ne 24.

Obwannakulala Bin Laden yazzibwa mu ddiini ey’ekimmemmete nga Musiraamu ow’ekiwayi kya Wahhabi. (Abasalafi) nga kino kye kiwa ky’Obusiraamu abaali ku nkola y’emateeka n’ennono enkadde ey’obusiraamu.

Bin Laden yali akkiririza mu mateeka ga Sharia era yava buto ng’awera nti ensi okutereera amateeka ga Sharia ge galina okufuga.

Enkola endala omuli eza Demokulaase, Obwanaakalyako ani, n’enkola endala byonna nga Bin Laden abiwakanya. Ensi yokka Bin Laden gye yali alaba nti y’eri ku mulamwa gw’obusiraamu yali Afghansitan we yali ng’ekulemberwa Abatalebani.

Bin Laden abadde akyogera lunye nti Amerika n’abamawanga amalala agakola ebikolobero ku Basiraamu galina okulwanyisibwa n’amaanyi gonna nga bayita mu Jihad. Ng’oggyeeko okulwanyisa Amerika, Bin Laden abadde yalangira olutalo ku mize ng’obubbi, obukaba, ennyimba , emizannyo n’ebintu ebirala ebigwa mu ttuluba eryo.

Amerika etendeka Osama okulwanyisa Russia Ng’amaze okusoma ddiguli mu 1979 bin Laden yeegatta ku Abdullah Azzam okulwanyisa Abarussia mu Afghanistan.

Eno Amerika gye yamumanyira ekitongole kya CIA ne kimuyamba mu kutendekebwa. Yatwalibwa mu Amerika n’atendekebwa era bwe yadda mu Afhanistan n’ayongera okutendeka abalwanyi abalala.

Ng’ayambibwako Abamerika, Bin Laden yatandikawo akabiina akayitibwa Maktab al-Khadamat, mwe baayisa ssente n’ebyokulwanyisa wamu n’okutendeka abalwanyi okuva mu nsi ez’enjawulo okulwana olutalo lw’omu Afhanisitan.

Olutalo lw’omu Afhanistan Osama yaluduumira okuva ku ntandika okutuuka bwe lwaggwa.

Atandika Al-Qaeda
Mu 1988, bin Laden yayawakana ne banne bwe baali mu kibiina kya Maktab al-Khidamat n’atandikawo ekibiina ekikye kye yatuuka Al Qaeda okusobola okutwala mu maaso entalo z’eddiini ne mu mawanga amalala.

Ala Qaeda kyatongozebwa nga August 11, 1988 era olutalo lw’omu Afghanistan bwe lwaggwa mu butongole nga 1989, Osama bin Laden yaddayo mu Saudi Arabia mu 1990 n’atandika okuteekateeka ekibiina kye.

Saddam Huseein bwe yalumba Kuwait mu August , 1990 waaliwo akasattiro mu Saudi Arabia olw’okutya nti Saddam ayinza okubalumba era Osama bin laden yasisinkana Kabaka King Fahd, ng’ayagala beeyambise abalwanyi okweng’anga Saddam mu kifo ky’okwesigama ku magye ag’abakafiiri Abamerika. Kyokka kino Kabaka yakigaana.

Osama ava e Sudan okuddayo mu Afghanistan Mu 1992 nga gavumenti ya Suadi Arabia emutaddeko akazito, Bin Laden yaddukira mu Sudan n’agenda mu maaso n’okuzimba akabiina ke ala al Qaeda.

Bwe yali mu Sudan Bin Laden yagenda mu maaso n’okuvumirira era n’okwererera Kabaka Fahd.
Nga March 5, 1994, Kabaka Fahd yatuma ababaka mu Sudan okusaba gavumenti okumugobayo.

Mu kseera ekyo Bin Laden yali ataddewo n’emirandira egy’amaanyi mu Egypt ng’akolagana ne bannalukalala aba Egyptian Islamic Jihad (EIJ), era yaluka olukwe mu 1995 okutemula Pulezidenti Hosni Mubarak wabula bwe lwagwa obutaka, Misiri Amerika ne Saudi Arabia zassa akazito ku Sudan n’ebimusibirako.

Baamussa ku nnyonyi empangise eyamutwala mu Afghansitan. Bwe yatuuka mu Afghanistan Osama ng’akolagana n’omulembeze w’Abatalebani Mullah Mohammed Omar yatandika okuwandiika n’okutendeka abalwanyi nga beetegekera misoni ez’enjawulo.

Omuyiggo gwa Osama bin Laden
Mu 1999, ekitongole kya CIA, nga kiri ne gavumenti ya Pakistani baakola pulaani ey’okukwata Bin laden bwe baali bamaze okuketta we yeekukumye kyokka okuwambibwa kwa gavumenti ya Pakistan mu mwaka ogwo , ne kulemesa misoni eyo okugenda mu maaso.

Amerika ye yasooka okutendeka Osama Laden

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutaka Walusimbi alagidde ...

OMUKULU w'ekika ky'effumbe Omutaka Yusuf Mbirozankya Kigumba Walusimbi alagidde olukiiko olufuzi olw'ekika kino...

Henry Ssekyewa eyattiddwa. Mu kifaananyi ekinene y'ennyumba ya Livingstone Zziwa eyasaanyiziddwaawo ng'abatuuze bamulumiriza okuba n'ekkobaane ku kufa kwa Ssekyewa

Bamusse mu bukambwe lwa nka...

ABATUUZE ku kyalo Nakikonge ekisangibwa mu ggombolola y'e Makulubita mu disitulikiti y'e Luweero baguddemu ekyekango...

Minisita Janet Museveni ala...

Minisita w'ebyenjigiriza mu ggwanga Janet Museveni naye atuuse e Makerere University  ku kizimbe ekikuklu ekya...

David Lukyamuzi

Owa KACITA abadde omusaale ...

Abasuubuzi mu Kikuubo baguddemu ekyekango munnaabwe David Lukyamuzi Wangi ate nga mukulembeze mu kibiina kya KACITA...

Nnankulu wa Kampala alaze p...

NANKULU wa Kampala Dorothy Kisaka ayanjulidde Banakampala ebiri muntekateeka ey'emyakka 5 gyasuubira okugoberera...