TOP

Ayagala nzaale

Added 2nd May 2011

Kati antiisatiisa nti bwe sizaala agenda kufuna omukyala omulala gw’ayagala ate bw’amala okuzaala ng’omwana amundeetera kuba ye abaana be tebakulira bweru. Ssenga nkole ntya kuba ekituufu abaana sisobola kubalabirira bulungi.

Kati antiisatiisa nti bwe sizaala agenda kufuna omukyala omulala gw’ayagala ate bw’amala okuzaala ng’omwana amundeetera kuba ye abaana be tebakulira bweru. Ssenga nkole ntya kuba ekituufu abaana sisobola kubalabirira bulungi.

 

Nkimanyi nti munno omwagala naye okusinziira ku mbeera gy’olimu tekiba kirungi kwongera kuzaala. Abasajja bangi tebatwala buvunaanyibwa bwabwe mu maka naddala bwe bamanya nti omukyala asobola okulabirira abaana. Abaana abataano naddala ku mbeera ya leero okubalabirira si mulimu mwangu. Ky’olina okukola kya kwogera ne balo amanye omugugu gwe weetisse.

Gwe njagala mulema
Nafunye omukyala gwe njagala okuwasa naye mulema. Simanyi ngeri mukwano gwaffe guno gye gwatandikamu naye nalabira awo nga mmusiimye. Alina empisa era muntumulamu, afaayo nnyo ku bulamu bwange ate muyonjo nnyo. Twatandika okunyumya ku by’okwanjula naye kye ntidde, anaasobola okuzaala kuba obulema bwe bungi.

 

Obulema si kikulu naddala ng’omuntu omwagala. Abantu bangi tebaagala kuwasa oba kufumbirwa bantu balina bulemu ku mibiri gyabwe nga balowooza nti babeera banjawulo ekintu ekitali kituufu. Okuzaala asobola kuba basobola n’okumulongoosaamu omwana. Ky’olina okumanya nti osobola n’okufuna omukazi nga si mulema naye n’alemererwa okuzaala. Bw’oba wasalawo kumwagala fuba okulaba nga tomumenya mutima.

Nnazaala ammazeeko emirembe
Nnazaala wange ansobedde. Yalwala ne tumuleeta tubeera naye nga tumujjanjaba era kati yawona naye agaanyi okudda ewuwe. Yalinamu omuze gw’obwenzi n’okunywa omwenge nga ffenna tugumanyi. kati alinayo abasajja abamukwana ate nga baku kyalo.

Mpulira nga ntandise okuswala mu bantu kuba oluusi bamuleeta nga yenna engoye ziri waggulu ne nswala mu baana.

Ssenga mmukolere ki kuba mbikooye?

Ekizibu ky’oliko kya maanyi. Bazadde bannange njagala mumanye nti bw’omala okuzaala waliwo ebintu ebimu by’olina okwerekereza. Bw’oba osazeewo kubikola mumanye ebifo we mulina okubikolera. Mwana wange weeyambise abantu abakulu ku kitundu n’omwami wo babuulirire ku nnazaala wo. Omwami wo ajja kukutegeera tomanya ayinza n’okugamba nnyina n’addayo.

Ntya okwekebeza
Tuli bafumbo wabula twazaala omwana ne bamusanga ng’alina siriimu. Baze bwe yakimanya n’asalawo okwekebeza kyokka n’akizuula nga yali talina. Nze sinneekebeza era baze abeera ang’amba ng’ende bankebere kuba ndabika nga nze nasiiga omwana waffe siriimu. Eby’okwegatta twabivaako dda era obufumbo bwaffe tebugenda bulungi. Kati anneesibyeko nti tugende ffembi batukebere naye mpulira nkyatidde. Ssenga nkole ntya kuba obufumbo nkyabwagala naye ye omusajja alabika ayagala kufuna mukazi mulala. Nkole ntya?

 

Mwana wange kirungi ne weekebeza nga balo bw’akugamba. Edda abantu baafunanga obulwadde buno mu ngeri nnyingi. Abamu baabuggyanga mu kujjanjaba bantu baabwe, abalala mu kukozesa mpiso n’ebintu ebirala bingi naye ennaku zino kizibu okufuna obulwadde mu ngeri eno. Tomanya munno ky’akugamba kyandiba ekituufu naye okukikakasa olina kusooka kugenda kwekebeza. Ekirala, kisoboka nga muli bafumbo omu okuba ng’alina obulwadde ate ng’omulala talina. naye bwe mulaba omusawo asobola okubalaga engeri gye musobola okusigala nga muli wamu. Kansuubire nti omwana wo omutwala n’afuna obujjanjabi.

toggwaamu ssuubi osobola okuwangaala kasita naawe wejjanjaba.

Omukyala yalwala biki?
Mukyala wange alina ebintu mu bitundu bye ebyekyama bye sitegeera. Yasooka n’ang’amba nti muggya we yamuloga era ne tutambula mu basawo abawerako naye ebintu ne bigaana okuwona. Bwe byagaana ne ngoba mukyala wange omukulu nga mmulanga bulogo. Wabula kati ebintu byeyongera bweyongezi era sibitegeera. Bino biki?

Moses e Kyotera

Ebintu by’ogamba nze ndowooza nti nsundo oba binaanansi. Buno obulwadde bweyolekera nnyo mu bakyala wabula abasinga bwe babufuna balowooza nti ddogo mu kifo ky’okugenda mu ddwaaliro babajjanjabe. Buno obulwadde bwa kikaba era bwe bukula ennyo omuntu bayinza n’okumulongoosa. Mugende mu ddwaaliro bamujjanjabe.

Ayagala nzaale

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Jjumba ne bannaddiini  nga basabira omwoyo gwa Ssaabasumba.

Omusumba w'e Masaka Jjumba...

Omusumba w'e Masaka Severus Jjumba y'akulembeddemu mmisa y'okusiibula Ssaabasumba w'Essaza ekkulu erya Kampala,...

Khalid Al Amer nga yaakatuuka.

Omuwalabu asinga 'okwemulis...

Munnansi wa Buwalabu Khalid Al Ameri ng' ono amanyidwa nnyo okukozesa emikutu gy'omutimbagano okulaga abantu by'akola...

Abantu nga bakaaba e Namugongo.

Emiranga ng'abantu bakuba e...

Emiranga ng'abantu bakuba eriiso evvannyuma ku mubiri g'omwagalawa waabwe Ssaabasumba D.r Cyprian Kizito Lwanga ...

Muwonge (ku ddyo nga bw'afaanana) ng'abuusizza ddigi.

Mutabani wa Super Lady alaz...

FILBERT Muwonge, ng'ono mutabani wa kyampiyoni w'emmotoka z'empaka owa 2011 ne 2018, afuludde banne mu ddigi z'empaka....

Ebyana nga binyumirwa obulamu e Kamwokya.

Ebbaala zigyemye ne ziggula...

EBBAALA zeewaggudde ku mateeka agaayisibwa poliisi ku kutegeka ebivvulu ku lunaku lw'Amazuukira. Ekivvulu ekyamaanyi,...