Kino kyaddiridde biwoobe okuva mu batuuze abaabadde beebase nga bakaabira ebintu byabwe ng’ebyasinze obungi byabadde bya mu nju.
Ibrahim Ssennabulya nga ye muwandiisi w’akatale kano, yategeezza nti ekitundu ky’amayumba agaayidde kyabaddemu abasawo b’ekinnansi era wano wabaawo n’abanywerawo emmindi era nga bakyanoonyereza oba ng’emmindi ye yavuddeko omuliro guno.
Ensonga endala gye balowooza y’eyokuba ng’ekitundu kino kirimu abanywi b’enjaga kyokka nga bano bazze balwanyisibwa okuva obukulembeze obupya lwe bwatwala obuyinza.
Abayiriddwaako ebintu byabwe eby’omu maka mwe muli Annet Namukungu ne Nathan Musujja.
Akatale k’e Wakaliga kayidde