Bino minisita w’ebyentambula, John Nasasira eyabadde ne munne ow’eggwanga ow’ebyensimbi, Aston Kajara be baabyanjudde mu kakiiko ka palamenti ak’ebyenfuna akaakubiriziddwa Steven Mukitare (Bulisa).
Baabade bagenzeeyo okusaba palamenti olukusa okwewola ensimbi eziwera obukadde bwa ddoola za Amerika 350 (eza Uganda obuwumbi lusanvu) okuva mu bbanka y’e China eyitibwa Export and Import Bank of China.
Ku zino gavumenti egenda kwongerako ezisigadde okuzimba oluguudo luno kyokka nga lwakusasulira buli ayitako okuggyako emmottoka z’amagye, ez’abakungu n’eza poliisi ezizikiriza omuliro. Omubaka Henry Banyenzaki (Rubanda West) yeccwaccwanye bwe yategedde ku oluguudo luno lwakusasulira.
Yagambye: ""Abantu bawa emisolo kumpi ku buli kimu. Abandibadde beesunga nti bawonye jjaamu ate mubagamba bya kusasulira’’.
Kyokka Nasasira eyabadde omukkakkamu yagambye nti ebweru enkola eno yatandika dda. Yagambye nti oluguudo bwe lunaggwa lugenda kukwasibwa naggagga alusolozengako ssente ku mmottoka eziyitako n’oluvannyuma asasule gavumenti buli mwezi ziyambe mu kusasula looni.
Oluguudo lusuubira okumala emyaka nga 20 nga teruzzeemu kukolebwa. okulukola.
Oluguudo lw’e Ntebe olupya lwakusasulira